Musasis waffe
Minisita w’Obuwangwa, Embiri N’Obulambuzi Oweek. Kyewalabye-Male ategeezezza nti Obwakabaka bugenda kutandika okuwandiisa n’okugaba ‘License’ eri Abalungamya b’emikolo bonna mu kaweefube w’okulongoosa entambula y’emirimu gyabwe.
Bino Kyewalabye abyogedde abasisinkanye mu ttabamiruka waabwe atudde mu Bulange nga bavudde mu buli kitundu kya Buganda okuteesa ku ngeri gye bayinza okutereeza empeereza wamu n’okwekulakulanya.
Kyewalabye agambye nti omulimu gw’okulungamya emikolo gwa nnono, n’olwekyo oyo yenna agukola alina okuba ng’alambikibwa Obwakabaka era ng’agoberera ebyo ebilagiddwa.
N’olwensonga eyo, Minisita asabye abakulembeze b’ekitongole kya Majestic Brands okubafunira ekkakalabizo ery’omulembe olwo batongozebwe ng’abaweereza b’Obwakabaka nga balina n’endagamuntu eriko engabo y’obwakakabaka.
Agambye nti ennaku zino Abalungamya abamu baleese amalala mu mikolo gy’okwanjula ng’abamu bagenda bambadde amakanzu aga ‘kala’ ez’enjawulo okuli bbululu, kyenvu n’eb’emyufu.
“Tusaanye tuwe ekkanzu ekitiibwa kubanga kye kyambalo ekitufuula ab’enjawulo. Mibijjeemu amalala. Omuwendo gw’ekkanzu muleme kugussa! Ekkanzu y’omuganda ebeera ya muleera. Mulekeraawo okwambala ekkanzu nga ziriko empologoma wansi, kubanga ne Kabaka tazambala,” bw’ategeezezza.
Abasabye nabo okwewa ekitiibwa mu ngeri gye beetwalamu kubanga omulimu gwe bakola gwa mugaso nnyo era omukolo gw’okwanjula gutambulira ku bbo.
“Mwe muli ba ‘consultant’. Muwe omulimu ekitiibwa nammwe omuwendo gwammwe gulinnye,”
Kyewalabye ayogedde ku nsonga endala omuli okusimba emiti mu kwanjula, n’abasaba okukakasanga nti emiti gisimbibwa wamu n’obutava ku buko ekiro.