Bya Gerald Mulindwa
Karuziika – Fort Portal
Obwakabaka bwa Buganda bwaniriza Omukama wa Tooro omuggya Edward Rukidi Nyabongo atikkiddwa leero mu kikaali ky’e Karuziika e Fort Portal.

Ku mukolo guno obwakabaka bukiikiriddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu, Oweek Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Omulangira David Kintu Wasajja, ne Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke.

Oweek Prof. Twaha Kaawaase, annyonnyodde nti enkolagana ya Buganda ne Tooro yava dda eyo mu kyasa eky’e 19 era tuli ba luganda. Agamba nti oluvannyuma lw’okuseerera kwa Omukama Oyo, kino kye kiseera abatooro okugenda mu maaso nga beerabira ebyo ebibaawula, n’ekisinga obukulu kwe kukuuma ennono n’obuwangwa bwabwe ne babitambulirako.

“Tosobola kukuuma bwakabaka nga oyawukanye n’empisa zaabwo”, bw’ategeezezza..Ku lw’obwakabaka.
Oweekitiibwa Prof Twaha Kaawaase Kigongo, yeyamye okuyambulira awamu n’obukulembeze bwa Tooro obuggya n’ekigendererwa ekyokulaba nga obukulembeze bw’Ennono bulwanirira enfuga ya federo basobole okukola ku nsonga zaabwe.










