
Bya Francis Ndugwa
Mukono – Kyaggwe
Obwakabaka bwa Buganda bweggase ku bulisitaayo awamu n’eggwanga lyonna okwaniriza n’okuyozaayoza, Omulabirizi wa Mukono omuggya Rt. Rev. Enos Kitto Kagodo atuuziddwa mu butongole era nakkiriza okudda mu bigere by’ Omulabirizi James William Ssebagala eyawummudde.
Obubaka obuyozaayoza kulwa Buganda, Katikkiro Charles Peter Mayiga abutisse, Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa era nga yabusomedde abakulisitaayo abakung’aanidde ku ssomero lya Bishop’s SS e Mukono ku Ssande.
Katikkiro Charles ayozaayozezza Omulabirizi Kagodo era nategeeza nti kino kimugwanidde olw’obukozi bwe, amusabye okukwatagana ne Buganda asobole okuyamba abantu b’ekitundu kino okwegobako obwavu.
Mu ngeri ey’enjawulo Katikkiro Mayiga, yeebazizza Omulabirizi awummudde, Rt Rev. James William Ssebagala olw’okukwatagana obulungi ne Buganda era nasaba omuggya okunyweza enkolagana eno.

Omukolo gw’okutuuza Omulabirizi Kagodo gukulembeddwamu Ssaabalabirizi Dr. Stephen Kazimba Mugalu era bw’abadde ayogera asabye Rt. Rev. Kagodo okusigala nga mukakamu era yebuuzenga era yeesigame ku bakulisitaayo bekitundu kino okutwala mu maaso enteekateeka z’obulabirizi ezaali zatandikibwako.
Ye Pulezidenti Museveni mu bubaka bwe bwatisse omumyuka we Jessica Alupo asabye, Rt Rev. Kagodo okukunga abantu be Mukono babeere bakozi era balwanyise obwavu era namuwa ekirabo ky’ emmotoka kimuyambeko okutuuka ku bakulisitaayo yonna gyebali.

Ye omugole, Rt Rev. Enos Kitto Kagodo yeeyamye okutumbula embeera z’abaweereza n’abaawule era alwanyise obwavu awamu n’ekibbattaka nga asimba emmwaanyi n’ensuku ku ttaka lyonna ery’obulabirizi mukitundu kino.
Omukolo guno gwetabiddwako, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Omutaka Kasujja ne Katikkiro we awamu n’abakungu abalala.









