• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde mutabani wa Prof. Gordon Wavamunno

Gambuuze by Gambuuze
September 22, 2024
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde mutabani wa Prof. Gordon Wavamunno
0
SHARES
40
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Nakwero

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde mutabani wa Sir Prof. Gordon Wavamunno, Joe Kayima Wavamunno eyafiira mu ggwanga lya Thailand ku Lwomukaaga lwa Ssabbiiti ewedde bweyasirittuka n’agwa mu kinaabiro era ng’ono aziikiddwa olwaleero. Joe Wavamunno e Thailand yali agenzeeyo ne mukyala gweyali atutte okujjambwa.

Obubaka obw’okusaasira okuva Embuga Katikkiro Charles Peter Mayiga abitisse Omumyuka we Owokubiri, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa  nga mu bubaka buno, omugenzi asiimiddwa olw’okukola obutaweera ate n’obukugu mu kutambuza ebitongole eby’enjawulo Kitaawe bye yatandikawo. Kamalabyonna era yeebaziza Omutonzi olw’obulamu bwawadde Joe Kayima ne by’amusobozesezza okukola mu kiseera ky’amaze ku nsi. Mu ngeri yeemu, Katikkiro yebazizza Prof. Wavamunno olw’okusiga mu baana be ensigo ey’obukozi n’okubaagazisa ensi yabwe Buganda ne Uganda okutwaliza awamu

Mu ngeri ey’enjawulo, Mukuumaddamula asaasidde Omutaka w’Ekika ky’Ente, Katongole olw’okuviibwako muzzukulu we abadde ow’omugaso era naasaasira ab’oluganda lw’omugenzi bonna olw’okusomoozebwa kwebayitamu. 

Ku lulwe, Owek. Nsibirwa asaasidde nnyo Prof. Wavamunno olw’okuviibwako omwana era namukwasa Katonda amugumye. Wano wasinzidde neyeebaza Prof. Wavamunno olw’emirimu emingi gyakoledde Obwakabaka ate n’akisiga ne mu baana be. Owek. Nsibirwa era yebazizza Prof. Wavamunno olw’okutumbula olulimi Oluganda nga ayita ku ttivi ye eya WBS mu biseera ng’ekyali ku mpewo.

Omukolo gw’okuziika Joe Kayima gwetabiddwako, Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, Nnaalinya Sarah Kagere, Omulangira David Kintu Wasajja, Owek. Hajj Ahmed Lwasa, Owek. Christopher Bwanika, Oweek. Daudi Mpanga, Owek. Mutaasa Kafeero, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, abakulembeze mu Gavumenti eyawakati, n’abakungu abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist