• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka buzzeemu okugema abantu COVID-19

Gambuuze by Gambuuze
March 4, 2022
in Amawulire, Eby'Obulamu
0 0
0
Obwakabaka buzzeemu okugema abantu COVID-19
0
SHARES
50
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis NdugwaBulange – Mmengo

Obwakabaka buzzeemu okugema abantu ekirwadde kya  Ssennyiga Corona okusobola okukuuma abantu ba Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga balamu ng’enteekateeka eno eyindidde mu bimuli bya Bulange e Mmengo ku Lwokutaano nga yaakumala ennaku bbiri nnamba.

Enteekateeka eno etongezeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga agemeddwa akayiso ke akookusatu nga kano ke kongera obukuumi mu mubiri eri abo abagemebwa emirundi ebiri ate nga bali waggulu w’emyaka 50.

Mukuumaddamula Mayiga asinzidde wano n’akunga abantu  okusoosowazanga ebyobulamu nga bettanira buli nteekateeka ezireetebwa  basobole okwekuuma nga balamu olwo basobole okutumbula embeera zaabwe era bakulaakulane.

“Tulina  enjawulo nnene nnyo wakati w’omuntu n’ekisolo. Ekisolo ky’okutale kiri ku bwakatonda ffe abantu tulina okutegeera ekituufu ekituyamba okutereeza obulamu bwaffe. Era nze ndowooza omuntu bwalagajjala nafa Katonda ajja kumubuuza. Lwaki mugendera ku bibooziboozi nga Ssaabasajja asise omukono gw’ekkanzu ne bamukuba empiso nga mulaba, Nnaabagereka ne Katikkiro ne bakola kye kimu ggwe n’olowooza nti b’onywa nabo amalwa be basinga okutegeera!” Katikkiro Mayiga bw’abuuzizza.

Katikkiro era awadde bannayuganda amagezi okukomya okutwalibwa amawulire amafu ku by’obulamu wabula beebuuze abasawo abakugu okunnyonnyoka.

Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ategeezezza nti abantu ba Kabaka bazze mu bungi nga tewali abawaliriza era ne yeebaza Obwakabaka olw’enteekateeka eno.

Ye akulira emirimu ku ddwaliro e Mmengo Godfrey Ssemanda  akkaatirizza obukulu bw’okwegemesa era n’alambika ku ddoozi ya ‘Booster’ egemebwa eri abantu abakuze mu myaka era n’akakasa nti eddagala lino teririna bulabe nga bwe byogerwa.

Ate ye akulira ebyobulamu mu kitongole KCCA mu divizoni, Dr. Dennis Buluma  yeebazizza Obwakabaka olw’amaanyi n’etoffaali bwe liteeka mu kutumbula ebyobulamu by’abantu era n’asaba abantu okwenyigira mu nteekateeka zino kubanga zaakubayamba.

Abamu ku bagemeddwa beebazizza Ssaabasajja okufaayo ku bantu ba bulijjo era ne bakubiriza n’abantu abalala okukozesa omukisa oguleeteddwa bakuume obulamu.

Okugema Ssennyiga corona wano mu bulange  kwakumala ennaku bbiri nga kutandise leero olwo kukomekkerezebwe enkya ku Lwomukaaga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.