Bya Musasi waffe
Obwakabaka buzizza buggya endaagaano gyebwakola ne kkampuni ensogozi y’omwenge eya Nile Breweries Ltd [UBL] okusogola omwenge gwa Ngule. Ssenkulu wa kkampuni eno Alvin Mbugua yeyataddeko omukono kulwa UBL ate Ssenkulu wa Majestic Brands, Omukungu Ronald Kawadwa naateekako kulw’Obwakabaka. Endagaano y’amyaka essatu. Ng’ayogerera munsisinkano gyebabaddemu ku mbuga enkulu e Bulange Mmengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga yatageezezza nti ng’Obwakabaka, balina essanyu okukolagana n’abantu abenjawulo okutuukiriza ebigendererwa by’obwakabaka omuli n’okujja abantu mubwavu. “Omugaso gwaffe omukulu wano kwekukuma ennonno n’ebyobuwangwa bya Buganda. Tosobola kuba Bwakabaka nga tolina byabuwangwa ebiraga kyoli. Tulina okozesa emikisa gyonna egyamikago okutumbula obuwangwa bwa Buganda. Kizzaamu amannyi nti omukago gwetulina ne Uganda Breweries gutuyamba okutuukiriza ebiruubirirwa byaffe ng’okulwanyisa obwavu,” Mayiga bweyagambye. Katikkiro yagasseko nti omukago gwonna okuvaamu ebibala, guteekeddwa okutambula okumala akaseera akawera. Yeeyamye okugenda mumaaso n’okuwagira UBL kubanga kyelaze lwatu nti baamazima ate baagaliza Obwakabaka. Katikkiro era yakubirizza abantu okwewala okuba bawaddanga. “Abantu baleme kunywa mwenge gyobeera nti gugenda kuggwa mubita oba tegugenda kubaawo enkya.” Ye Alvin Mbugua ku lwa UBL, yeebazizza nnyo Kabaka olw’okusiima nebatandikawo omukago guno. “Sikyabulijjo ffe banneekolera gyange okukwatagana n’obukulembeze nga buno. Tulina essuubi nti Ngule ajjakuba wamannyi siwano mu Uganda wokka wabula n’ebweruwaayo,” Mbugua bweyategeezezza. Yabikudde ekyama nti bukyanga batandika enkolagana eno, batadde muggwanika lya Buganda akawumbi k’esimbi kalamba. “Omukago guno gutuyambye okusobozesa abantu baffe obutanywa mwenge guyinza okubaviirako obuzibu. Ngule gwe mwenge ogusoose mu Uganda okusogolwa mu bintu byonna nga bikolebwa wano omuli muwogo n’omuwemba,” Mbugua bweyagambye