Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo- Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda mu kwongera okusitula omutindo gw’ebyobulamu mu bizinga bwabangawo enteekateeka y’okufuna ensimbi ez’okudduukirira omulimu gw’okuleeta eddwaliro ly’okumazzi liyambeko mu kutuusa obujjanjjabi eri abantu abawangaalira ku bizinga by’e Ssese ne Buvuma.

Omulimu guno gwetaaga ensimbi emitwalo gya ddoola 44, ku zino Obwakabaka bunoonya emitwalo 18 nga nsaleesale w’okusonda ensimbi zino tanaggwako nga 30 omwezi ogujja Mukulukusabitungotungo.
Mu kuwayo ensimbi zino, Omumyuka wa Katikkiro owookubiri era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, yebazizza abantu ba Kabaka abadduukiridde omulanga guno nga bawaayo ssente era mumativu nti abantu abali mu bizinga baakufunamu nnyo mu kaweefube ono.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki agamba nti essaza Ssese, Buvuma ne Kyaggwe kuliko ebizinga bingi nga abantu baayo beetaaga obujjanjabi, wano asabye ababaka ba paalamenti ne gavumenti okwongera okudduukirira omulimo guno.
Omuwanika w’akabondo ka Ababaka ba Paalamenti abava mu Buganda “Buganda Caucus” nga y’akiikiridde ssentebe wabwe Hon. Robert Migadde Ndugwa, Hon. Cissy Namujju asinzidde mu lukungaana luno neyeebaza Obwakabaka olw’okufuna okwolesebwa kw’e ddwaliro lino nti abantu babadde babonaabona nnyo okufuna obujjanjjabi.

Gavana wa Rotary Disitulikiti 9214 Omuk. Daniel Mukasa Ddamulira awadde essuubi nti enteekateeka eno yakugguka nga nsaleesale tannatuuka.









