Bya Ronald Mukasa
Masaka – Buddu
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase atongozza yinsuwa y’ebyobulamu n’obujjanjabi eya ‘Munno Mukabi’ mu ssaza Buddu n’akubirizza bannabuddu n’abantu bonna okugyeyuna basobole okwetegekera embeera y’obulwadde etaataganya ennyo abantu naddala mu mawanga agakyakula. Owek. Kawaase agamba obulwadde n’okufa tebyewalika nga n’olwekyo abantu basaana okwettanira yinsuwa basobole obutasumbuyibwa nnyo nga bibalumbye. Omukolo gw’okutongoza yinsuwa eno gubadde ku Mbuga y’essaza Buddu era nga Owek. Kaawaase akiikiridde Katikkiro wa Buganda.

Owek. Kaawaase ategeezezza nti okutongoza enkola ya Munno Mukabi n’okuggulawo ettabi lya Weerinde Insurance e Buddu y’emu ku nteekateeka ezikulembeddemu okujjukira amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 31. Ono era ategeezezza nti Kabaka atadde amaanyi mu kutumbula embeera z’abantu be okulaba nga bawangaalira mu bulamu obweyagaza era nga ne yinsuwa eno yeemu mu nteekateeka eziri ku mulamwa guno.
Owek. Kaawaase akozesezza omukisa guno okwebaza bannamukago abegasse ku kitongole ky’Obwakabaka ekya Weerinde Insurance mu nteekateeka eno, nga kuno kuliko aba Liberty Insurance, ARR n’aba KSG era n’abajjukiza nti basazeewo bulungi okukolagana n’Obwakabaka mu kutumbula embeera z’abantu.

Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akkaatirizza obubaka bw’Owekitiibwa Kaawaase era n’ategeeza nti enkola ya yinsuwa etongozeddwa eri mu pulogulaamu y’Obwakabaka ey’okutumbula ebyobulamu by’abantu ba Nnyinimu nga bwekirambikiddwa mu nteekateeka nnamutayiika y’Obwakabaka 2023 – 2028. Omwami wa Kabka amulamulirako essaza Buddu, Pookino Jude Muleke, asabye bannabuddu okujjumbira yinsuwa eno balage abantu abalala nti Buddu eggumidde mu kuwagira enteekateeka z’Obwakabaka. Okusinziira ku Ssenkulu wa Weerinde Insurance, Omuk. Jennifer Mirembe, Ssensuwa yinsuwa ey’ekika kino abadde tebangawo mu ggwanga. Ono ategeezezza nti mu nteekateeka ya ‘Munno Mukabi’ omuntu asasula emitwalo ana mu ena (440,000) omwaka gwonna neyeefunira obujjanjabi. Omukolo gwetabiddwako Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bannaddiini, bannabyabufuzi, ne bannabuddu bangi









