• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka butongozza empaka z’okugaba omusaayi

Gambuuze by Gambuuze
August 13, 2021
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka butongozza empaka z’okugaba omusaayi
0
SHARES
63
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole kya Kabaka Foundation butegese empaka z’okugaba omusaayi okwetooloola amasaza gonna aga Buganda okulwanyisa ebbula ly’omusaayi eriri mu ggwanga.

Empaka zino zaatongozeddwa ku Lwokuna era zigenda kutandikira mu ssaza Buddu okuva nga 6 okutuusa nga 10 omwezi ogwa September.

Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala agamba nti emiwendo gy’abeetaaga omusaayi mu malwaliro giri waggulu kyokka nga tebalaba we guva.

“Blood Bank essaawa eno bw’otuukayo ng’oyagala musaayi, ekyamazima Katonda wa kutwalira kubanga tewali musaayi, tumaze ebbanga ng’abantu bali ku muggalo nga tewali agaba musaayi era kati embeera nzibu nnyo.” Omuk. Ndagala bw’ategeezezza.

Okusinziira ku Omukungu  Ndagala, bamaze dda okusomesa abaami b’amasaza nga bayambibwako ekitongole kya Red Cross ne Uganda Blood Transfussion Services ne babalaga obukulu bw’okugaba omusaayi era mu Buddu bajja kumalayo ennaku ttaano era n’ebifo awagabira omusaayi bijja kubeera bitaano.

Akwanaganya okugaba omusaayi mu kitongole kya Red Cross Namayanja Esther ategeezezza nga bwe basomeseza abaami bano  ku bantu abakkirizibwa okugaba omusaayi  era ne balagirwa okuddayo mu bitundu byabwe basomese abantu be batwala ku nsonga eno.

“Mu mulimu guno ogw’okukunga abantu ba Kabaka mu Buganda wonna, tulina bye tuteekwa okumanya n’okussaako essira, nti omuntu anaagaba omusaayi yafaanana atya.” Namayanja bw’agasseeko.

Omumyuka wa Ppookino asooka Nalubowa Rose agambye nti abantu bangi abeetaaga omusaayi era n’akunga bannabuddu okujjumbira empaka zino, basobole okuzetikka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist