Bya Gerald Mulindwa
Kisubi – Busiro

Obwakabaka butenderezza nnyo emirimo gya bannaddiini ab’ekibiina ki Brothers of Christian Instruction abakoze omulimo ogw’ettendo mu kubangula abaana ba Uganda nga bayita mu kisaawe ky’ebyenjigiriza n’eddiini.
Leero aba Brothers of Christian Instruction bajaguzza okuweza emyaka 100 nga baweereza bannayuganda mu ddiini ne mu by’enjigiriza era batandiseewo amasomero n’amatendekero agabanguddde abaana ba Uganda era bangi ku bbo bafuuse ba mugaso eri eggwanga.
Ku mukolo guno Kamalabyonna Charles Peter Mayiga y’akiikiridde Obwakabaka era y’aliko omuyizi mu masomero ga bannaddiini bano ye geyenyumirizaamu nti gaamuyigiriza eby’obukulembeze kwatambulira ne kati nga alamulirako Ssaabasajja Kabaka Obuganda.

Omukolo gukulembeddwa ekitambiro ky’emmisa ekiyimbiddwa Ssaabasumba wa Kampala, Paul Ssemogerere, mu kubuulira, agambye nti aba Brothers of Christian Instruction tebakoze kya kuzimba buzimbi masomero naye batadde ettoffaali ku kufulumya abantu ab’omugaso mu ggwanga omuli; abasawo, abasomesa, abakulembeze, bannamateeka, nga batambulira ku musingi ogwabagibwa bannaddiini aba Brothers of Christian Instruction.
Mu kwogera kwe, Katikkiro agamba nti eby’enjigiriza bitusobozesa okutegeera ebitwetoolodde era bituwa amaaso n’emikono netusobola okulaba eby’amagezi byetutandisobodde kulaba nga tetubanguddwa, naye obuyigirize obutaliimu kukkiriza era obutaliimu miramwa egy’obuntubulamu bifaananako Embwa etategeera mukama wayo.
Awonno yebazizza aba Brothers of Christian Instruction olw’okusomesa abaana b’eggwanga eby’Ensi ebyamagezi ate mu budde bwe bumu ne bafaayo ku mbeera zaabo be bagunjula nebabalaga omugaso gw’obwesigwa n’obwesimbu.
Agamba emyaka 100 egya ba Brothers of Christian Instruction nga basomesa wano mu Uganda, gitadde ettoffaali ddene ku Nsi yaffe.
Omumyuka w’omukulembeze wéggwanga H.E Rt Hon. Jesaca Alupo, nga y’atuusizza obubaka bw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, annyonnyodde nti eggwanga eritaliimu mpisa terisobola kukulaakulana n’olwekyo aba Brothers of Christian Instruction bakoze omulimu gwa maanyi okuteeka abaana b’eggwanga mu buwufu bw’okuba ow’omugaso eri abantu nga banogera eddagala ebizibu ebiruma abantu ababeetoolodde.
Abeebazizza okuleetawo obumu, era abasabye okuwagira kaweefube wa Gavumenti ow’okugoba obwavu nga bayita mu nteekateeka ya Parish Development Model, n’okulima ebirime eby’ettunzi. Aba Brothers of Christian Instruction be batandisi b’amasomero okuli; St. Mary’s College Kisubi, St. Henry’s College Kitovu, Caltec Academy Makerere, St. Savio Junior School Kisubi, University of Kisubi, n’amalala.








