• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'Obulamu

Obwakabaka butadde omukono ku ndagaano n’e minisitule y’Ebyobulamu

Gambuuze by Gambuuze
January 30, 2020
in Eby'Obulamu
0 0
0
Obwakabaka butadde omukono ku ndagaano n’e minisitule y’Ebyobulamu
0
SHARES
19
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Oweek. Nankindu ngassa omukono ku ndagaano ate ku kkono ye Richard Kabanda kamisona mu minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti ya wakati

Musasi waffe

Obwakabaka bwa Buganda olwaleero butadde omukono ku ndagaano ne minisitule evunanyizibwa ku by’obulamu mu gavumenti yawakati okulwanyisa siriimu wamu n’okutumbula eby’obulamu.

Bwabadde assa omukono ku ndagaano eno e Bulange Mmengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti eggwanga terisobola kukula singa terisoosowaza byabulamu.  

“Gavumenti eyagala abantu babeere yaddeyaddeko mu by’enfuna kyemuva mulaba nga ereeta enteekateeka ez’enjawulo okuyamba abantu okukulaakulana. Naye byonna tebijja kubaako gyebitutwaala nga abantu sibalamu. Tetusobola kuzza Buganda ku ntikko nga abantu bonna balwadde. Endagaano eno gyetusizzaako emikono leero eruubirira okussaawo enkolagana okulwanyisa endwadde ezisinga okukwata abantu,” Mayiga bwagambye.

Anokkoddeyo endwadde nga Mukenenya, akafuba, kkookolo, omusujja gw’ensiri ng’ezimu ku zisinga okusumbuwa abantu. Mu nteekateeka eno, Obwakabaka bwakutuusa amawulire ku bantu kubanga okumanya kuyamba okulwanyisa endwadde. “Akwagaliza ebirungi akwagaliza bulamu bulungi,” Mayiga bwagambye.

Ku lulwe, minisita avunanyizibwa ku by’obulamu mu Bwakabaka Oweek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma agambye ng’ekitongole kyakulira, basanyufu nnyo nti bakola nga Ssaabasajja bweyalagira bakwasize wamu ne gavumenti kubanga abantu bebaweereza beebamu.

“Ensonga gavumenti z’egoba naffe zetugoba era tujja kuziggusa. Tuli bamalirivu okukolagana ku nsonga y’okulwanyisa mukenenya n’okusomesa abantu ku nsonga z’eby’obulamu. Ssaabasajja atukubiriza tuteeke nnyo amanyi ku kuziyiza endwadde,” Nnakindu bwagambye.

Ku lwa minisitule y’eby’obulamu mu gavumenti ya wakati Richard Kabanda ng’ono ye kamisona avunanyizibwa ku kutumbula ebyobulamu asiimye nnyo Obwakabaka bwa Buganda olw’olugendo  lwe baakatambula.

Agambye bakimanyi bulungi nti Obwakaba bulina ettoffaali ddene lye buteeka mu kutumbula eby’obulamu mu Buganda ne Uganda yonna.

“Tukimanyi nti Obwakabaka bubadde bukola emirimu egy’enjawulo okutumbula eby’obulamu naye nga tewabadde ndagaano ntongole mungeri ki gyetulina okukolaganira awamu okusobola okulaba nga emirimu gino gyikwatibwa mungeri eyekisajja kikulu,” Kabanda bwagambye.

Endagaano eno yakumala emyaka etaano.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist