Musasi waffe
Olwa leero Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga atongozza mask oba giyite akakookolo akateekebwa ku mimwa n’ennyindo okusobola okwetangira ekirwadde kya coronavirus.
Bwabadde atongoza mask zino ku Mbuga enkulu e Bulange Mengo, Mayiga agambye nti buli muntu ateekedwa okukola ekisoboka kyonna okulaba ng’eggwanga livvuunuka ekirwadde kya senyiga wa Kolona.
“Kasirikitu nnyo akawuka kano naye ka mputtu, ate kayita mu bitundu ebikulu bisatu, mumaaso, mu nnyindo ne mukamwa, n’olwekyo obukookolo mu bwambale,” Katikkiro bweyagambye.
Ono yasabye abantu okugenda mumaaso okukola ebyo byonna ebiziyiza akawuka okusasaana ng’obuteeseemberera, okunaaba mu ngalo ne ssabbuuni wamu n’okwewala enkungaana z’abantu abangi.
Ku lulwe Japheth Kawanguzi akulira Innovation Village abasse omukago n’Obwakabaka okusobola okukola obukookolo buno yagambye nti musanyufu olw’enkolagana eno.
“Twayagala dda okukolagana n’Obwakabaka bwa Buganda mu bintu ebyenjawulo era okujja kwa ssenyiga ono kituwadde omukisa okukolaganira awamu okukokola mask,” Kawanguzi bweyagambye.
Obukookolo buno bwawuddwamu emitendera ebiri ng’obomutendera ogusooka bwakugula omutwalo gumu ate omutendera ogw’okubiri bwa 2000.
Obwakabaka busuubira okufuna dollar za America 30,000 okuva mu kutunda obukookolo buno.