Bya Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda busse omukago ne kkampuni ya Housing Finance Bank wamu ne ya Henan Guoji, okusobozesa bannayuganda okwegulira ennyumba ezizimbiddwa ku mutindo ku bbeeyi eya wansi era ku kibanja mpola.

Omukago guno gutongozeddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mmengo leero ku Lwokuna, n’asaba abantu okujjumbira omukisa guno.
Enteekateeka eno ekulembeddwamu Housing Finance Bank ne kkampuni ya Henan Guoji Group ng’eno y’ezimba ennyumba zino mu ‘Estate’ e Ssentema erondoolwe ekitongole kya Buganda Land Board.
Owek. Mayiga agambye nti omutindo gw’enkulaakulana mu nsi yonna gulabikira mu byansula ate nga kino ky’ekimu ku bintu ebisoomooza ennyo bannayuganda.
“Buli omu alina w’asula, naye w’osula wamatiza? tukolagana ne banaffe bano okusobola okuteerawo abantu ennyumba ez’omutindo ku ssente ensaamusaamu nga Ssaabasajja bwe yatulagira.” Mayiga bw’asabye.
Owoomumbuga asoomoozezza gavumenti okuyamba Obwakabaka okusitula omutindo gw’ebyensula ng’ekola enguudo naddala mu bitundu ebirimu enteekateeka nga zino.
“ Tugenda kuzimba ennyumba ezisukka mu 400 e Ssentema. Tusaba gavumenti ekole ebintu ng’enguudo, amasannyalaze, amazzi n’okukubiriza kkampuni z’amasimu okutereeza amayengo gaazo olwo nno nayo efunemu ssente.” Katikkiro bw’akkaatirizza.
Omuk. Simon Kaboggoza y’ataddeko omukono ku lwa Buganda, Ssenkulu wa Housing Finance Bank, Michael Mugabi n’assaako ku lwa bbanka eyo, ate Shen Windy n’assaako ku lwa Henan Guoji group era nga kinajjukirwa nti kkampuni ya Henan y’ezimba ennyumba z’Obwakabaka mu Mirembe Villas e Kigo.
Ono ategeezezza nga Ssaabasajja Kabaka bwe yayisa ekiragiro kino, bwe yali atongoza ennyumba ezaazimbibwa mu Mirembe Villas n’amulagira okuteerawo abantu be abatalina busobozi kugula nnyumba z’e Kigo omukisa nabo basobole okusula obulungi.
Omukungu Kaboggoza ategeezezza nti ennyumba zino zaatandika dda okuzimbibwa era nga baakamalako ennyumba 7 ezigenda okukola ng’ekyokulabirako era zino Katikkiro waakuzirambula mu bwangu.
Ennyumba ziri mu mitendera egy’enjawulo omuli ez’ekisenge ekimu, ebibiri n’ebisatu ng’omuntu asobola okugula okusinziira ku busobozi bwe.
“Omugaso gw’okukolagana ne kkampuni y’ebyensimbi nga Housing finance bank, kwe kuteekawo embeera abantu mwe basobolera okwewola ssente nebagula ennyumba olwo ne basasula mu kibanja mpola ng’omuntu ennyumba emuweebwa ng’ebbanja liweddeyo.” Omuk. Kaboggoza bw’annyonnyodde.
Ssenkulu Mugabi agambye nti, “Uganda ekyalina obwetaavu bw’ennyumba eziwerera ddala obukadde 2 n’ekitundu. Noolwekyo tuli basanyufu okubeera ekitundu ku pulojekiti eno nga tuyambako abantu okugula ennyumba ku kibanja mpola. Tukolaganye n’Obwakabaka mu pulojekiti ez’enjawulo ng’okuzimbira abaliko obulemu ennyumba, Kyapamungalo, LAFI ppaka ku Ssentema.”
Omukolo gwetabiddwako abakungu okuva mu Bwakabaka bwa Buganda ne mu bitongole ebibiri ebisse omukago n’Obwakabaka.