• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obwakabaka busse omukago n’aba Uganda Tourism Association

Gambuuze by Gambuuze
October 21, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Obwakabaka busse omukago n’aba Uganda Tourism Association
0
SHARES
85
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange Mmengo

Obwakabaka busse omukago n’ekibiina ekitaba kkampuni z’ebyobulambuzi ez’obwannannyini ekimanyiddwa nga Uganda Tourism Association, okwongera okukulaakulanya ebyobulambuzi mu Buganda ne Uganda.

Omukolo guno gubadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era ku lwa Buganda, Omuk. Victoria Kayaga Kiggundu y’ataddeko omukono ate Ssenkulu w’ekibiina kino, Richard Kawere n’ateekako omukono era Minisita avunaanyizibwa ku nnono n’ebyobulambuzi, Owek. Kyewalabye Male abaddewo ng’omujulizi.

“Twebaza bwe mujja era mubayambe okwongera okunyiga n’okukamula ebyobulambuzi bye tulina okulaba bwe tusobola okubiggyamu ensimbi. Mwebale n’okutendeka bammemba bammwe kuba bw’oba totendese bantu ne kye bayina oluusi tebakimanya.” Owek. Kyewalabye bw’annyonnyodde.

Okusinziira ku Minisita w’Ennono n’Obuwangwa era avunaanyizibwa ku by’obulambuzi  mu Bwakabaka, Owek. David Kyewalabye Male, endagaano eno nkulu nnyo kuba ebyobulambuzi ze zimukkampuni eziwaniridde ebyobulambuzi mu ggwanga.

Owek. David Kyewalabye Male asinzidde ku mukolo guno n’ategeeeza nti  Obuwangwa n’Ennono bisaanye okusibwako essira era okubitumbula kubanga bino musingi gw’amaanyi mu by’obulambuzi .

Ono agamba nti  singa bino bitwalibwa ng’ensonga ne bisoosowazibwa,  bisobola okuvaamu ensimbi empitirivu.

Minisita Kyewalabye annyonnyodde nti okuyita mu mukago guno, ebyobulambuzi mu Bwakabaka bigenda kutumbulwa era ategeezezza nti Obwakabaka bwetegefu okukola obutaweera okulaba ng’ekiruubirirwa kino kigguka.

Ssenkulu w’ekibiina kya Uganda Tourism Associattion, Richard Kawere ategeezezza nti  basuubira ebibala bingi mu mukago guno kubanga Obwakabaka bulina ebyobulambuzi ebyomuggundu  ebitayinza kubuusibwa maaso era bye basuubira nti bisobola okuvaamu ensimbi.

Ate ye Ssenkulu w’ekitongole kya Buganda Heritage Tourism Board, Omuk. Victoria Kayaga annyonnyodde nti ebbanga lyonna babadde batambula n’ekibiina kino  era nga gakyali mabaga kuba obulambuzi n’ennono bye bimu ku bintu ebigenda okuzza Buganda ku ntikko.

Ekitongole ky’Obwakabaka ekivunaanyizibwa ku  by’obulambuzi mu Bwakabaka, ekya Buganda Heritage  Tourism Board kye kiwomye omutwe mu nteekateeka eno era abakungu abakulembera ekitongole kino banyonyodde nti  ebyobulambuzi mu Bwakabaka bitumbulibwa okudda ku mutindo ate n’okulaba nga bikuumibwa n’ebyasa ebirijja okubisanga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.