• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obwakabaka busse omukago naba  Community Integrated Development Initiative okutumbula embeera z’ Abantu

Gambuuze by Gambuuze
March 21, 2025
in Agafa e Mengo
0 0
0
Obwakabaka busse omukago naba  Community Integrated Development Initiative okutumbula embeera z’ Abantu
0
SHARES
32
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa 

Bulange – Mmengo

Obwakabaka busse omukago n’ekitongole ki Community Integrated Development Initiative gwa myaka 5 okukyusa embeera z’Abantu. 

Omukago guno gutunuulidde okutuusa amazzi amayonjo ku bantu, okukuuma obutondebwensi, okubangula abavubuka 72 n’okubawa bbasale okusoma eby’e mikono, okubangula abalimi ku nnima ey’omulembe nga bakola ebibiina by’obwegassi okubakwasizaako, okutumbula ebyobulamu nga basomesa abantu ku kwerinda endwadde. 

Nga ajulira omukago guno, Katikkiro asanyukidde ebibala ebigenda okuguvaamu  nga okufunira abantu emmere, agamba nti ebbula lye mmere lireeta obwavu era abantu bwe batafuna mmere ne kaweefube wokuzza Buganda ku ntikko tasobola kugguka kuba abayala tebalowooza bibazimba.

Ku nsonga y’okubangula abavubuka, Kamalabyonna akakasa nti Abavubuka bwe batabaako bye bakola ku myaka emito bajja kufa obwavu.

 Era ayagala batandikirewo okukola ekyo kyebasobola nga bukyali basobole okukifunamu, awonno okubangula abavubuka nga bukyali kiyamba okufuna omuntu atuukiridde era ekyo kye kinazza Buganda ku ntikko. 

Ku nsonga za obuyonjo, Katikkiro agambye nti endwadde ebitundu 70% ziva ku bujama era ekisibye Africa mu bwavu butaba bayonjo, n’olwekyo nga babangula abavubuka mu bintu ebirala eky’obuyonjo nakyo kikulu nnyo okusobola okwewala endwadde ezitutawaanya.

 Akubirizza abantu okusimba emiti, era bewale okumansa kasasiro.

Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n’ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, agamba nti okuzza obuggya omukago guno, baakizudde nti kyenkana buli kitongole kikwatiddwako omuli; eky’e by’obulamu, eby’enjigiriza, Abavubuka, eby’obulimi, era awadde obweyamo okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubasuubirwamu. 

Dr. Jjuuko Fulgensio, Ssenkulu w’ekitongole kya CIDI ategeezezza nti okukolagana n’obwakabaka kya kubayamba okutuuka ku bantu abatuufu abetaaga okukwatizaako mu ntambuza y’obulamu bwabwe obwa bulijjo. 

Ku lwa Obwakabaka,  Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, yataddeko omukono ate Dr. Jjuuko Fulgensio n’assaako ku lwa CIDI.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist