
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka busse omukago n’ekitongole ki Community Integrated Development Initiative gwa myaka 5 okukyusa embeera z’Abantu.
Omukago guno gutunuulidde okutuusa amazzi amayonjo ku bantu, okukuuma obutondebwensi, okubangula abavubuka 72 n’okubawa bbasale okusoma eby’e mikono, okubangula abalimi ku nnima ey’omulembe nga bakola ebibiina by’obwegassi okubakwasizaako, okutumbula ebyobulamu nga basomesa abantu ku kwerinda endwadde.
Nga ajulira omukago guno, Katikkiro asanyukidde ebibala ebigenda okuguvaamu nga okufunira abantu emmere, agamba nti ebbula lye mmere lireeta obwavu era abantu bwe batafuna mmere ne kaweefube wokuzza Buganda ku ntikko tasobola kugguka kuba abayala tebalowooza bibazimba.

Ku nsonga y’okubangula abavubuka, Kamalabyonna akakasa nti Abavubuka bwe batabaako bye bakola ku myaka emito bajja kufa obwavu.
Era ayagala batandikirewo okukola ekyo kyebasobola nga bukyali basobole okukifunamu, awonno okubangula abavubuka nga bukyali kiyamba okufuna omuntu atuukiridde era ekyo kye kinazza Buganda ku ntikko.
Ku nsonga za obuyonjo, Katikkiro agambye nti endwadde ebitundu 70% ziva ku bujama era ekisibye Africa mu bwavu butaba bayonjo, n’olwekyo nga babangula abavubuka mu bintu ebirala eky’obuyonjo nakyo kikulu nnyo okusobola okwewala endwadde ezitutawaanya.
Akubirizza abantu okusimba emiti, era bewale okumansa kasasiro.

Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n’ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, agamba nti okuzza obuggya omukago guno, baakizudde nti kyenkana buli kitongole kikwatiddwako omuli; eky’e by’obulamu, eby’enjigiriza, Abavubuka, eby’obulimi, era awadde obweyamo okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubasuubirwamu.
Dr. Jjuuko Fulgensio, Ssenkulu w’ekitongole kya CIDI ategeezezza nti okukolagana n’obwakabaka kya kubayamba okutuuka ku bantu abatuufu abetaaga okukwatizaako mu ntambuza y’obulamu bwabwe obwa bulijjo.
Ku lwa Obwakabaka, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, yataddeko omukono ate Dr. Jjuuko Fulgensio n’assaako ku lwa CIDI.