• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka busiimye omugenzi James Mulwana olw’okulaakulanya Obuganda

Gambuuze by Gambuuze
January 16, 2023
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka busiimye omugenzi James Mulwana olw’okulaakulanya Obuganda
0
SHARES
38
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Masiriba – Ssingo

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu egyakolebwa omugenzi James Mulwana olw’ettofaali lye yateeka ku nsi ye era n’abalala nebasabibwa okumulabirako nga baweereza Buganda ne Uganda.

Okusiima kuno kubadde Masiriba mu ggombolola ye Bukomero ku Ssande mu kusaba okwategekeddwa okujjukira obulamu bwa Mulwana n’okwebaza Katonda kwebyo byeyamukozesa.

Katikkiro yeebazizza Omugenzi,  olw’okuweereza Kabaka n’Obwakabaka kuba yeetabanga butereevu mu kaweefube ow’okuzzaawo Obwakabaka n’okuzimba ebitongole nga Buganda Land Board,  kye yabbulula mu Ebyaffe Bboodi.

Owek. Mayiga agamba nti Mulwana yalina obukugu mu byeyali akola era yali teyenyooma ate nga mwetowaze eri buli muntu nga n’olwekyo obulamu bwe bugwanidde okujjukirwa.

Ye Minisita w’Ebyentambula,  Gen. Edward Katumba Wamala,  asabye abavubuka okulabira ku mugenzi,  batandike n’akatono ke balina,  bakole nnyo basobole okulaakulana.

Gen. Katumba Wamala asabye abantu ababa baagala okutandika amakolero obutatya kutuukirira gavumenti nga Mulwana bweyali neyebaza abaana olw’okusigala nga batwala omukululo gwa kitaabwe mu maaso.

Nnamwandu Sarah Mulwana n’abaana beebazizza kitaabwe olw’okubasimira omusingi omugumu kwebatambulidde emyaka gyonna neyeeyama okutwala omukululo gwe mu maaso.

Omukolo gutandise nakusaba okukulembeddwamu Omulabirizi w’e Mityana Dr. James Bukomeko eyasabye abantu obutalindiriza nga baliko ekintu kyonna kye baagala okukola.

Omubuulizi omukulu, Omulabirizi  Hannington Mutebi,  atenderezza Omugenzi olw’obuntubulamu n’enkolagana ennungi gye yalina n’abantu. Ono era asabye ab’enju okutwala mu maaso enkolagana eyo.

Eyayogedde kulwa bannamakolero,  Charles Mbiire atenderezza ennyo Omugenzi olw’ettofaali lyeyassa ku kutandikawo amakolero mu ggwanga okuli;  Uganda Batteries, Nice House of Plastics, JESA awamu ne kampuni endala eziwerako.

Omukolo guno gwetabiddwako, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Omulangira Dr. Kassimu Nakibinge, Omulangira David Kintu Wassajja,  Katikkiro eyawummula Owek. John Baptist Walusimbi,  baminisita mu Bwakabaka abawummula nabakyawereza n’abantu abalala bangi.

Kinajjukirwa nti  eggulo nga Gatonnya 15, 2023 munnamakolero James Mulwana yava mu bulamu bw’ensi mu 2013 era giweze emyaka 10 nga afudde.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist