
Bya Shafik Miiro
Butikkiro – Mmengo
Obwakabaka busiimye bannabyamizannyo abakira ku bannabwe mu mwaka gwa 2024 olw’omulimu gwebakola okwongera okumanyisa abantu n’okukuza ebitone by’ abantu naddala abavubuka mu Buganda era wano Katikkiro Charles Peter Mayiga wasinzidde naasaba abazadde okuyamba abaana baabwe okukuza ebitone ate nga tebasudde misomo.
Omukolo guno guyindidde mu Butikkiro e Mmengo ku Lwokubiri nga abasiimiddwa baweereddwa ebbaluwa ez’enjawulo ezisiima byebakola.
“Mulimu gwa bannabyamizannyo n’abakulembeze mu Bwakabaka okubuulirira abazadde baleke abaana bakuze ebitone bye balina omuli n’okuzannya emizannyo, kyokka tetwagala baana bave mu masomero kubanga munnabyamizannyo eyasomako, ayawukana nnyo n’oyo ataasomako era bwobagenderera mu kiseera nga bawumudde Emizannyo, eyasomako ayakuwana kw’oyo ataasoma” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owoomumbuga agamba nti eby’emizannyo bya nkizo nnyo kubanga byanguya omulimu gw’okukunga abantu, birimu Ssente, bizimba obumu, ate byansanyusa eri abo ababyetabamu, ategeezeza nti emizannyo gyayamba nnyo ne mukuzzaawo Obwakabaka n’okunyweza obumu mu bantu n’okubakumaakuma.
Owek. Mayiga yeebaziza bonna abaliko kye bakola okulaba nga emizannyo mu Buganda gubeera ku ntikko omuli; abateesiteesi ku nkiiko ez’enjawulo, abazannyi, abalamuzi, abavujjirizi, bannamawulire, abakulembeze n’abalala.
Minisita w’Ebyemizannyo mu Bwakabaka, Owek. Robert Serwanga agamba nti enteekateeka eno ekoleddwa omulundi ogusoose, kyokka kimanyiddwa mu Buganda nti akoze obulungi asiimibwa, na bwekityo ekikoleddwa Kya kuzzaamu maanyi abantu ab’enjawulo abaliko kye bakolera ebyemizannyo mu Buganda okulaba nti ebitone by’abaana bangi bitumbulwa, emirimu gitondebwawo, ate n’abantu ba Kabaka okwongera okubeera obumu.
Mu basiimiddwa mulimu bannabyamizannyo abaakize ku bannaabwe mu mwaka 2024 nga bano baalondeddwa bannamawulire, mulimu ab’enkiiko abateekateeka emizannyo egy’enjawulo nga empaka z’Amasaza, Ebika, Omweso, Enkuyo, Ekigwo, Amaato n’emirala.

Mu balala abasiimiddwa kuliko bannamawulire, ab’olukiiko olukwasisa empisa mu mizannyo egy’enjawulo, abantu abaayo ebifo omutegekerwa emizannyo egy’enjawulo, Amasaza agatese emizannyo egitali gimu n’ebirabo ebirala bigabibiddwa.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita Israel Kazibwe Kitooke, Abaami b’Amasaza ab’enjawulo, abakulira ebitongole, Bannabyamizannyo n’abagenyi abalala.