Bya Betty Namawanda
Rakai – Kkooki
Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu egikoleddwa abadde ssentebe wa disitulikiti y’e Rakai, Robert Benon Mugabi, gwe boogeddeko nti abadde musajja mukozi ng’ayagala Obwakabaka bwe era akoze ennyo okukulaakulanya abantu ba Kabaka.
Kino kibikkuddwa Omukwanaganya w’emirimu gya Kabaka mu ssaza ly’e Kkooki, Owek. Gertrude Ssebuggwaawo Nakalanzi, bw’abadde e Lwamaggwa mu Rakai ku kabaga abadde ssentebe Robert Benon Mugabi, kw’asiibulidde abalonzi era n’okusiima Katonda olw’obulamu bwa Nnyina, Meyi Nandyowa ow’emyaka 84.
Owek. Ssebuggwaawo yategeezezza nti abakulembeze abasigaddewo bakoppe eky’okulabirako ekya Mugabi nga bateeka mu nkola ebiragiro bya Ssaabasajja Kabaka, okusobola okukulaakulanya abantu ba Kabaka.
Ku mukolo guno, ssentebe wa disitulikti y’e Kyotera, Patrick Kintu Kisekulo, w’asinzidde n’alangirira nga bw’atagenda kuddamu kwesimbawo kisanja kirala ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Kyotera. Wabula ne yeebaza Mugabi olw’obuteenyigira mu ntalo era n’okubeera omuntu atasiba busungu.
Omukolo guno gwetabiddwako bassentebe ba disitulikiti ez’enjawulo okwabadde; Dr Elly Muhumuza owa Ssembabule, Hajji Muhammad Kateregga owa Bukomansimbi awamu n’abantu abalala.
Mu kwogera kwe, Mugabi yagambye nti ebisinga Katonda mu bulamu abibawadde nga kati basaba kimu abawe abalongo kuba kye kizibu kye basigazza. Ye maama wa Mugabi, Meyi Nandyowa yajaguzza emyaka 84 me yeebaza Katonda amukumye naddala wakati mu kusoomoozebwa nga yaviibwako bba emyaka 42 emabega.