Musasi waffe
Ebitongole wamu n’abantu abavunanyizibwa kubyobulamu, beebazizza Ssaabasajja Kabaka olwa kaweefube gwatadde mu kutumbula eby’obulamu mu ggwanga nga ayita mu bubaka n’ensiisira z’ebyobulamu ezitegekebwa obwakabaka, abantu mwebafunira obujjanjabi ku bwerere. Bino babyogeredde mu lukungaana olutaba abavunaanyizibwa ku by’obulamu mu ggwanga olumaze ennaku ssatu nga luyinda ku Speke Resort hotel e Munyonyo ne Serena Hotel mu Kampala nga bakubaganya ebirowoozo ku mbeera y’eby’obulamu nga bwebiyimiridde mu ggwanga, wansi w’omulamwa; ‘Okussa sente mu kutumbula eby’obulamu n’okuziyiza endwadde okutuuka kubuli muntu.’ [Investing in Health Promotion and Disease Prevention to Achieve Universal Health Coverage]
Abakugu banokoddeyo endwadde ez’enjawulo Kabaka zagguddeko olutalo okulaba nga zifuuka lufumo mu ggwanga, muno mulimu; mukenenya, Nalubiri (sickle cell), Hepatitis B, ne Fistula. Minisita w’enkulaakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, nga yeyakiikiridde Obwakabaka mu lukungaana luno, agamba nti obwakabaka ne minisitule y’eby’obulamu mu gavumenti ya wakati bali mu nteekateeka ya kutta mukago n’ekigendererwa eky’okulaba nga abantu ba Kabaka babeera balamu bulungi.
Abakiise mu lukungaana luno bakizudde nti abakulembeze b’ennono balina okuteekebwa ku mwanjo kubanga Gavumenti tesobola kubaako buwanguzi bwetuukako mu by’obulamu nga tekwataganye na bwakabaka.
Ebiyigiddwa mu lukungaana luno.
1). Buli muntu musawo. Omuntu alina okukimanya nti ye musawo w’obulamu bwe era alina okwerwanako obutakwatibwa ndwadde.
2). Abantu okwetaba mu nteekateeka z’eby’obulamu nga bateeka mu nkola wamu n’okugoberera ensonga z’eby’obulamu.
3). Abantu bayige okuteeka ssente mu bulamu bwabwe nga babuvujjirira okusobola okwewala endwadde baleme kulinda bya bwerere.