
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda busiibuludde Abasiraamu n’okubaagaliza ekisiibo ekirungi wakati mu kusaba abasajja bayambeko okutaasa abaana ab’obuwala ku Mukenenya.
Omukolo guno guyindidde mu bimuli bya Bulange e Mmengo ku Lwokusatu ng’era Supreme Mufti Muhammad Shaban Galabuzi yabadde omugenyi omukulu.
Bw’abadde ayogerako eri abasiibi bano, Supreme Mufti Muhammad Shaban Galabuzi ategeezezza nti obusiraamu okuva edda bwalina enteekateeka eziyamba okutangira ebirwadde nga Mukenenya nga buyita mu nkuza y’abaana wamu n’okutangira obwenzi.
Supreme Mufti Galabuzi asabye abafumbo okunyweza obwesigwa olwo lwebajja okuyambako Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ku lutalo lwaliko olw’okulwanyisa Mukenenya.

Ye Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza nti singa abantu badda ku ddiini kijja kubeera kyangu okulwanyisa Mukenenya singa abantu banaatambulira ku mateeka ga Katonda.
Owek. Mayiga era asabye abasiibi okufuba okusimba emiti kiyambeko okutaasa ku mbeera y’obudde etandise okwonooneka n’okutaasa obutonde bw’ensi.
Ono asabye abantu okufaayo okusoosowaza eby’obulamu kuba abantu bangi bakosebwa ekirwadde kino nebalemwa okulaakulana n’eggwanga okugenda mu maaso.
Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi era amyuka omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa agamba nti abasajja ennaku zino tebakyateekebwateekebwa kuba abasinga bafa ku mwana muwala bwatyo naasaba abantu okufaayo ku mwana omulenzi okusobola okukendeeza ku kirwadde kya Mukenenya.

Kulw’ abavujirizi ab’omukolo guno aba Airtel, Ali Balunywa ategeezezza nti babadde balina okutuukiriza ku nteekateeka yabwe eno era neyeeyama okugitwala mu maaso kuba eyamba okugatta abantu ba Beene.
Ensisinkano eno yeetabiddwako Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Mutumba, Ssaabaganzi, baminisita, abakungu b’Obusiraamu ab’enjawulo, ababaka ba Palamenti wamu n’abaweereza mu Bwakabaka.









