
Bya Francis Ndugwa
Masengere – Mmengo
Obwakabaka busanyukidde eky’ akakiiko akalondoola ebyenjigiriza ebyawaggulu ka National Council for Higher Education okuwa Muteesa 1 Royal University, kyata (Charter) nga kati ekkirizibwa okugaba ebbaluwa ku mitendera gyonna era kati minisita w’ebyenjigiriza, Owek. Dr Prosperous Nankindu Kavuma agamba nti batunuulidde kubangula abayizi ku mutendera gwa Masters ne PHD.
Bino Owek. Nankindu Kavuma abyogeredde mu Masengere ku Lwokusatu bw’abadde ku BBS Terefayina nga ayogera ku mbeera y’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda.
“Woofunira ebbaluwa eva mu National Council for Higher Education obeera osaanidde kuba ebbaluwa eyo tegwabugwi, kitutte ebbanga okuva mu 2019 nga batugamba nti mutereeze wano, mutereeze wali netutereeza.Twasembeddwa Pulezidenti wa Uganda atuwe ‘Charter’ oba olukusa olutukkiriza okukola emirimu gyonna mu byenjigiriza,” Owek. Nankindu bw’ategeezezza
Okusinziira ku Minisita Nankindu oluvannyuma lw’okufuna Charter eno kati abayizi ba Muteesa 1 basobola bulungi okuganyulwa mu nteekateeka za gavumenti ez’enjawulo nga okuweererwa ku bbanja nebasasula nga bafulumye nebatandika okukola.
“Kati Muteesa ya ddembe okukolagana ne Ssettendekero yenna mu Uganda n’ensi yonna kuba babeera ku mutendera gwegumu kuba kati tuli ku mutindo mutuufu era mu mateeka era basobola okukola okunoonyereza okwenjawulo ekibadde ekizibu luli,” Owek. Nankindu bw’agasseeko.
Ono annyonnyodde nti abayizi abava ku Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal bakwanguyirwa okweyongerayo ku mutendera oguddako nga ‘Masters’ oba Post Graduate Diploma era nga kino kitwaliramu naabo abamala edda emisomo, era mu bwangu bajja kutandika okuyingiza abayizi ku mutendera gwa Masters ne PHD.

Owek. Nankindu alambuludde nti Settendekero wa Muteesa alina abasomesa abakugu abatuufu abalina okubangula abayizi, balina obwetengeredde mu byensimbi era balina nebikozesebwa ebigwanidde okusobozesa omuyizi okuyita obulungi.
Nankindu agambye nti wadde batendeka amasomo ag’enjawulo naye amaanyi baakugateeka nnyo ku masomo ga ‘Engineering’ ne Saayansi ku mitendera gyonna, okusobola okulaakulanya Buganda ne Uganda.
Mu ngeri ey’enjawulo, Minisita Nankindu ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda bulina enteekateeka okukwasizaako ku baana abafuna obuzibu bw’ebisale olw’ekirwadde ki COVID-19 nga baweererwa ekitongole kya Kabaka Education Fund bwatyo nasaba abazadde n’abayizi okukozesa omukisa guno.









