
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Obwakabaka buwadde abantu amagezi okuba abakozi ennyo okwekulaakulanya kuba y’engeri yokka ey’okwewala okugwa mu bikemo n’okuyingirira emizze egitali gimu.
Amagezi gano agawadde ye Katikkiro w’ebyalo bya Ssaabasajja, Omuk. Moses Luutu bw’abadde atikkula Amakula okuva mu ggombolola ya Mutuba I, Mpigi mu Mawokota mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.

Luutu agamba nti abantu balina okukola ennyo okugaziya ennyingiza yabwe basobole okweyimirizaawo batumbule embeera zabwe nga tebabalira ku balala kibayambe nga abantu ne Buganda esobole okudda ku ntikko.

Akulembeddemu abantu bano okubatuusa embuga, Edward Muwanga agamba nti kino babadde balina okutuukiriza ennono eno okulaba nti embiri za Ssaabasajja Kabaka tezigwesa byakulya.
Muwanga aweze nti bakusigala nga baweereza Obwakabaka awatali kutunuulira bisoomozo kuba tebisobola kuggwawo.
Ebirabo ebireeteddwa mubaddemu emmere enkalu, ebisolo awamu n’ebintu ebirala ebyenjawulo.









