• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka busabye abafumbo okuwa abavubuka eky’okulabirako ekirungi

Gambuuze by Gambuuze
December 30, 2025
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka busabye abafumbo okuwa abavubuka eky’okulabirako ekirungi
0
SHARES
165
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Namirembe – Kyaddondo

Obwakabaka bukubirizza abafumbo okubeera abanyiikivu mu mirimu gye bakola okusobola okuwa eky’okuyiga eri abaana abato abali gye bakakkalabiza emirimu gyabwe.Obubaka

Obubaka buno Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa abuwadde bw’abadde yetabye mu kusaba kw’okwebaza Katonda okla “Dean” w’e Namirembe The Very Rev. Can. Dunstan Kiwanuka Mazinga okuweza emyaka emyaka 25 mu bufumbo ne mukyala we Rev. Can. Lovincer Nalusiba Kiwanuka ku Lutikko y’Omutukuvu Pawulo e Namirembe.

Oweek. Waggwa agamba nti abantu bazze mu kusaba kuno okuwa obujulizi ku bibaddewo wakati w’abajaguza ababiri bano mu bufumbo bwabwe obujjudde ebyokulabirako enkumu naddala wonna we babadde baweerereza.

Oweek. Nsibirwa era agamba nti abajaguza bano abalabidde ebbanga era abeebazizza nnyo olw’okubeera ekyokulabirako eri abaana baabwe. Abeebaziza olw’okubeera nti mu myaka gino gyonna balina abantu be bakuteko naddala okubeera nga kati abasinga bafumbo.

“Namanya Can. Lovincer ng’akyasumba abaana bange e Gayaza High School era bawala bange bonna bamuwaddeko obujulizi olw’engeri gye yabasumbamu mu bukakkamu n’obwetowaze. Nneebaza Dean olw’omulimu gwe yakola mu baana abalenzi ku Mengo SS okubagyamu ekyejo ne bafuuka ab’omulamwa” Owek. Nsibirwa.

Owek. Waggwa yebazizza nnyo Can. Mazinga olw’okubeera omuntu alemera ku nsonga gy’ayagala egguke era wano anokoddeyo omulimu gwe yakola okunoonya ssente ezaddaabiriza Lutikko y’e Namirembe nga yawa entebya yaazo zonna awatali kwemulugunya kuva mu Bakristu.Akulembeddemu

Akulembedde mu okusaba kuno Omulabirizi w’e Namirembe Moses Bbanja yebaziza nnyo abagole bano olw’obutaswaza kkanisa awamu ne Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda okuva mu bufumbo ky’ayise eky’ettendo kubanga bakuumye ebirayiro byabwe era bawadde Katonda ekitiibwa okutuukiriza kino.

Omusumba Banja agamba nti abagumikiriza be batuuka ku ntikko mu bufumbo obujjudde ebintu eby’essanyu awamu n’okunyiga wabula bano bayise mu buli muyaga oguzzeewo mu bulamu bwabwe bw’atyo n’abasaba okusigala ku mulamwa guno lubeerera. Abajaguza bazzeemu okunyweza ebirayiro byabwe ne beyama okusigala nga babitambulirako okutuuka Mukama Katonda lwalibajjulula okuva ku nsi.

Abajjaguza bafumbiriganwa nga 30 Ntenvu mu mwaka gwa 2000 mu Lutikko ya St. Phillip’s and Andrew’s e Mukono era Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda the most Rev Dr Stephen Kaziimba Mugalu yeyali “Bestman” wa Canon Mazinga.

Okusaba kuno kwetabiddwako Okusaba kwetabiddwako Omukulembeze w’Ennono owa Ekumfi Otuam okuva mu ggwanga lya Ghana Charles Ebo Henry Woode, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Olukulu Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda the most Rev Dr Stephen Kazimba Mugalu, abalabirizi abawummula mu kkanisa ne bannaddiini ab’enjawulo, Omuk. John Fred Kazibwe, abakulu b’amassomero g’ekkanisa ag’enjawulo n’abantu abalala bangi nnyo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.