Ssenkulu wa Airtel Uganda, Somasekhar Ganapathy asisinkanye Katikkiro wamu n’abakungu b’obwakabaka okwongera okunyweza omukago gwa Airtel ne K2 telecom (K2 Ejjudde).
Ensisinkano eno yetabiddwamu, Omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa ku lw’obwakabaka, Minisita wa Buganda o’webyensimbi Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Ssenkulu wa CBS FM Michael Kawoya Mwebe, ne Ssenkulu wa K2 ejjudde, Omulangira Arthur Mawanda. Ate kulwa Airtel Uganda, Amit Kapur Chief Commercial officer, Ali Balunywa Director Sales and distribution, Faridah Namutebi Head Strategic sales, ne Hajji Gava Musa, project manager Airtel-K2.
Ensisinkano ebadde ku Bulange- Mengo. Kinajjukirwa nti Obwakabaka bwakola omukago ne Airtel Uganda okusosobola okwongera amaanyi mu kampuni y’obwakabaka eya K2 Telecome era nga kati eyitibwa K2 Ejjudde.