Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda, nga buyita mu minisitule y’abavubuka, ebyemizaanyo n’okwewummuza, bulonze olukiiko lw’abantu 8, okukola ennongoosereza mu mateeka agagenda okuddukanya empaka z’amasaza.
Olukiiko olulondeddwa lukulirwa Bainamani Bernard, Omuwandiisi Festus Kirumira ate bammemba kuliko; Frank Kyazze, Haruna Kyobe, Ruth Nalwanga, Mwanje Dan, Richard Kirabira ne Simon Nsubuga
“Tubasuubira okutuggyirayo amateeka agasobola okutuyamba okuzimba empaka zino nga mu kino balina okulaba nga ttiimu y’essaza esobola okweyimirizaawo, okufuba okulaba nti wabeerawo obwerufu mu kukung’aanya ensimbi n’okuzisaasaanya n’empuliziganya ku nsonga y’ensimbi. Tulowooza nti amateeka gano gajja kusikiriza bamusigansimbi ne bannamikago abasobola okuteeka ssente mu muzannyo gw’omupiira.” Omuk. Ssejjengo bw’agambye.
Ono agamba nti ttiimu zino zibadde zisanga obuzibu bunene okweyimirizaawo wakati ng’abawagizi tebaliiyo mu bisaawe olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona kyokka nga waliyo abavugirizi ne bannamikago abasobola okuzikwasizaako.
Okusinziira ku ssentebe w’olukiiko oluddukanya empaka zino, Omuk. Sulaiman Ssejjengo guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri nga bategeka empaka zino mu muggalo, era ku luno essira bagenda kuliteeka ku kugema abazannyi era olukiiko olulondeddwa lugenda kulung’amya ku kirina okukolebwa.
Agenda okukulira olukiiko luno, Bernard Bainamani ategeezezza nti omulimu ogwabwe omukulu gwakukola nnongoosereza mu mateeka agaliwo naye ate si be balina obuyinza obusembayo ku nsonga eno.
“Ogwaffe gwakukung’aanya birowoozo naffe tugattemu ebyaffe tubisindike eri akakiiko akateesiteesi ak’empaka z’amasaza. Batuwadde ebbanga lwa wiiki 2 okuva olwaleero era tutandikiddewo emirimu gyaffe era tetulowooza kusukka bbanga lituweereddwa.” Bainamani bw’ategeezezza.
Kinajjukirwa nti empaka z’amasaza ze zimu ku zisinga obuganzi mu ggwanga lino wabula emyaka egiyise zibadde zitawaanyizibwa nnyo ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekyateeka eggwanga ku muggalo.