• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obwakabaka bulaze ebibalo ku Mukenenya  mu Buganda

Gambuuze by Gambuuze
December 1, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Obwakabaka bulaze ebibalo ku Mukenenya  mu Buganda
0
SHARES
21
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda bulaze  ekitundu kino wekiyimiridde ku kirwadde kya Mukenenya  nga kino kyeyongedde okweriisa enkuuli bwogerageranya nekiseera ekiyise.

Ebiriwo biraga nti  Mukenenya mu Buganda yeeyongedde  n’obutundutundu 8.9, ku buli 100, so ng’ate abalwadde abali ku ddagala erya ARVs bawerera ddala 500,000.

Okulambulula kuno kukoleddwa Minista w’Olukiiko; Amawulire; Kabineeti; Abagenyi, era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Noah Kiyimba ku Lwokusatu mu lukungaana lwa Bannamawulire, olubadde ku Bulange.

Minisita alaze a engeri obulwadde buno gye butawaanyizaamu ekitundu kya Buganda eby’enjawulo, ne bugootanya enkulaakulana n’okusaanyawo amaka mu mwaka ogwa 2021.

Ebiriwo biraga nti Kalangala y’esinga okubamu abalwadde ba mukenenya n’obutundutundu 16% ku balwadde abali mu Buganda, nga baafuna abalwadde abapya 240 omwaka oguwedde.

Kyotera y’eddirira n’obutundutundu 13%, nga yafuna abalwadde abapya 680; Masaka y’eddako awo n’obutundutundu 9.8%, nga baafuna abalwadde abapya 680; Kalungu n’eddako n’obutundutundu 9.7%, nga baafuna abalwadde abapya 310.

Wakiso y’eddako n’obutundutundu 8.5, nga baafuna abalwadde abapya 6720; Lyantonde erina obutundutundu 8.2% nga yafuna abalwadde abapya 190.

Kampala erina obutundutundu 8%, nga yafuna abapya 4170. Buikwe erina 7.8% n’abapya 840; Mitayana 7.4% n’abapya 570; Mpigi 7.3% n’abapya 420.

Bukomansimbi 7.0% n’abapya 180; Kayunga 7% n’abapya 620; Luweero 6.6% n’abapya 810; Kiboga 6.6% n’abapya 250; Butambala 6.2% n’abapya 130; Ssembabule 5.8% n’abapya 340, so nga Rakai 5.5% n’abapya 300.

Omuwendo gw’abalwadde okuba waggulu mu Buganda kivudde ku nsonga eziwerako omuli; okuba nga mwe musangibwa ekibuga ky’eggwanga ekikulu, Kampala, ekirimu abantu abasukka mu obukadde 12, ssaako n’ebibuga ebirala nga nabyo birimu abantu nkumu.

Buganda y’ensingamu emirimu egy’enjawulo egikungaanya abantu abangi, so ng’ate era y’esinza ebizinga abavubi gye beegiriisiza n’okusaasaanya akawuka.

Ensonga endala ezilinnyisizza omuwendo gw’abalwadde kuliko; obwavu; obutabanguko mu maka; obwenzi; obutaagala kukozesa bupiira; omuggalo gwa COVID; okunywa ebiragalalagala awamu n’omwenge.

Obwakabaka bukubiriza abantu okwongera amaanyi mu kwekebeza mukenenya; okwewala okwegadanga mu bavubuka; okwekuumira ku babeezi bammwe; okukozesa obupiira; abakyala okujjumbira amalwaliro nga bali mbuto; okujjumbira eddala eriziyiza akawuka okusaasaana; abaami okutayirirwa ate n’abalwadde okujjumbira okukozesa eddala mu butuufu bw’alyo.

Mu ngeri yeemu, Obwakabaka bukubiriza abantu okubudaabuda abalwadde baddemu essuubi; so nga n’abalabirira abaana abalina akawuka basaana okubaagala ennyo n’okubakuumira mu masomero.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.