
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bulayiza abalung’amya b’emikolo mu Buganda wakati mu nteekateeka egendereddwamu okukuuma ennono n’obuwangwa mu nsi enkyukakyuka buli ddakiika.
Omukolo gw’okulayiza abakulembeze bano guyindidde mu bimuli bya Bulange era Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule yakoze omukolo guno nasaba abakulembeze abagya okunyweza ennono n’obuwangwa ku mikolo nga okwabya olumbe, okwanjula n’okukyala.

Ssentebe omuggya alayiziddwa ye Ismah Kajja ng’ono azze mu bigere bya Hannington Ssonko abadde Ssentebe okuva mu 2016, amyukibwa Yiga John Best Kabiito.
Ye Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba asinzidde ku mukolo guno nasaba abalungamya b’okumikolo okweyambisa Abataka babalambike mu nsonga z’Obuwangwa ezitali zimu.

Minisita w’Obuwangwa Ennono n’Obulambuzi, Owekitiibwa David Kyewalabye Male, akuutidde abalayiziddwa okunoonya bannabwe abalala abatali mu kibiina kino nti bajje batambulire wamu basobole okugenda mu maaso.
Omukolo gwetabiddwako, Minisita w’olukiiko, Kabineeti n’Amawulire Oweek Noah Kiyimba, Owekitinisa Philip Katahoire Minisita w’ensonga za wabweru wa Bunyoro mu Bukama bwa Bunyoro, n’abakungu ab’enjawulo.
Olukiiko luno olugenda okumala ekisanja kya myaka esatu lukulirwa Ssentebe Kajja Ismah, amyukibwa Yiga John Best Kabiito ate omuwanika ye Dickson Nsamba ate Ssaabawandiisi ye Omulangira Kayembe Muhammed Kayran namyukibwa Lumu Ahmed Yusuf.
Ayogerera ekibiina kino era ow’amawulire ye Kigudde Wilson William, akwasisa empisa ye Matovu Daniel Basajjasubi ate Hajji Kaweesi Kamada wa mbabulungi. Ssaalongo Kabanda Abby, wa byabuwangwa, Salongo Mawejje William, akole ku kunoonyereza ate Byaruhanga Godfrey agenda kukiikirira ebitundu ebirala.









