Musasi waffe
Minisita wa Ssaabasajja Kabaka akola ku nsonga z’eby’obulamu Oweek. Dr Prosperous Nankindu Kavuma afulumizza ensonga mwenda abazadde zebalina okussaako ennyo omulaka ng’abaana baabwe bali ewaka okusobola okwewala okusaasanya akawuka ka Coronavirus akali mu kutabaala amawanga.
Ku lw’okusatu, omukelembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalagira amasomero gonna okuggalawo gasindike abayizi ewaabwe okubatangira okufunira akawuka ku ssomero.
Olwaleero, minisita Nankindu ategeezezza nti kisaanidde abazadde okumanya butya bwebayinza okukuumira abaana ewaka nga tebafunye kawuka kano.
“Abaana n’abazadde balina okukimanya nti luno ssi luwummula lwa bulijjo. N’olwekyo, tetubasuubira kugenda mu kookingi oba okugenda okusoma kwonna. Tubaagala nga bali waka okusobola okwerinda obulwadde buno,” Nankindu bwagambye.
Asabye abaana okukomya okwenjeera mu bibuga nga bali ewaka kubanga kino kiyinza okuvaako okusaasanya akawuka.
Zino wammanga z’ensonga omwenda.
- Abaana tebalina kugenda mu kookingi
- Abaana tebalina kwenjeera
- Twagala abaana basomesebwe era baweebwe obutambi obukwata ku COVID-19 kubanga abamu babadde mu masomero nga tebabigoberera. Twagala bamanye okwekuuma ng’abategedde bukwata butya.
- Twagala okumalirawo ddala okukyala kw’abaana nab’okukyaza eka. Baleme kugenda mu katale era okugula ebintu kukolebwe omuntu omu eyeekakasa kyateekeddwa okukola ngali mu bantu abangi. Nebwebakomawo ewaka banaabe mu ngalo nga tebannaba kuyingira kwetabula mu bantu ba mu maka ago.
- Abaana benyigire nnyo mu kuyonja awaka basobole okumanya omugaso gw’okukuuma awaka nga wayonjo
- Buli muntu ayingira oba afuluma awaka tukimanye nti asobola okuleeta akawuka. Twagala okukubiriza Obuganda fenna ewaka tuteekewo amateeka ag’enjawulo n’okwekuuma era ebikozesebwa biteekebwe ku mulyango ne ku geeti zaffe nga wewali akadomola akalimu amazzi n’essabbuni buli ayingira anaabe mu ngalo.
- Twongere ku bukambwe ku nkyaaza y’abagenyi . Abaganda tulina engombo egamba nti mu nnyumba temuli kkubo. Tusaba enjogera eno tugikyuseemu nti mu nnyumba mulimu ekkubo. Sibuli muntu nti ajja kukyama mbu azze ku kubuzaako.
- Tukuuume ebisenge by’abaana baffe ng’amadirisa n’enzijji biggule. Twagala empewo eyingire ate nga efuluma. Kino kikulu kubanga abaana abamu bato era twagala abakulu babayambeko.
- Abasobola okukendeeza ku bungi bw’abantu abali ewaka . Abakozi abasobola okudda ewaabwe bagirenga baddayo tusobola okukendeeza ku bungi bw’abantu mukifo ekimu.