Bya Gerald Mulindwa
Bulange –Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bwakukwatagana ne Minisitule ekola ku by’obugagga eby’omuttaka mu gavumenti eyaawakati okulaba nga pulojekiti y’okuzimba omudumu gw’amafuta okuva e Hoima okudda e Tanzania n’okugaleeta ku tterekero e Kiringente mu Mpigi, guganyula abantu wansi mu byalo.

Okusinziira ku mumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Waggwa Nsibirwa, ensisinkano eno yeesigamiddwa ku nkwatagana era nga balaze abaminisitule ebintu ebikulu ng’Obuwangwa n’ennono, obutonde bw’ensi n’emiziro, gyebaagala bikwatibwamu.
“Twagala okulaba ng’abantu baffe emidumu gye bagenda okugikolera nabo bafunamu mu ngeri y’emirimu. Ate nga n’Obwakabaka twandiyagadde okukwatagana nabo tulabe nga tukolawo ebintu eby’ensibo, okugeza tusobola okuzimba ebisaawe, emidumu gye gigenda okuyita oba amalwaliro nga tuli nabo, okulaba nga fenna tufunamu,” Owek. Nsibirwa bw’ategeezezza.
Owek. Waggwa agambye nti bakkiriziganyizza era nga baakukolaganira wamu ne Minisitule eno okutwala pulojekiti eno mu maaso.
Ku lw’abakungu ba Minisitule, Eng. Herbert Magyezi Mugizu, ategeezezza nti ebitundu ebisinga emidumu gye gigenda okuyita biri mu Buganda nga y’ensonga lwaki babadde balina okusisinkana abakulu mu Bwakabaka okwegeyaamu.
Magyezi agambye nti bayagadde okulambikibwa Obwakabaka ku ngeri gye bayinza okukwatamu ebifo eby’enkizo ebigenda okukosebwa mu pulojekiti eno, esobole okuganyula abantu.
Ensisinkano ebadde ku Bulange era yeetabiddwamu Minisita w’Obuwangwa, Ennono n’Obulambuzi, Owek David Kyewalabye Male, Minisita w’ettaka, obulimi n’obutonde bw’ensi, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, Ssentebe wa Boodi ya Buganda Land Board, Owek Martin Sseremba Kasekende, n’abakungu abalala.









