Bya Ssemakula John
Kisenyi – Kampala
Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu n’ekitongole kya Haba Na Haba badduukiridde abantu abanaku naddala abawangaalira mu mugotteko n’emmere n’ebyokulya bibayambe okufuna kyebazza eri omumwa. Kino kibikkuddwa Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki bw’abadde atongoza enteekateeka y’okugabira abantu abataliiko mwasirizi emmere eyaweeredwayo ekitebe kya United Arab Emirates mu kaweefube w’okutumbula embeera za bannayuganda ku Lwokubiri.
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, asiimye ekitongole kino olw’okufaayo ku bantu ku ebigendererwa byakyo bikwatagana butereevu n’emiramwa gy’Obwakabaka.
Minisita Kawuki annyonnyodde nti nga Buganda bagenda kutambulira wamu n’ekitongole kino okulaba ng’abantu mu Bwakabaka abalina emmere bagiwaayo eri abeetaavu mu kifo ky’okugisuula.
Ono akunze abantu ba Kabaka okwettanira okulima emmere era bafeeyo okuyiga okulimira awafunda basobole okwekulaakulanya n’okukendeeza ku ssente ze basaasaanya nga bagula emmere.
Enteekateeka eno etandise na kulambula tterekero lya mmere egenda okugabwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, okusobola okutumbula embeera zaabwe.
Oluvannyuma Minisita wamu n’omubaka wa United Arab Emirates mu Uganda, Abdula Alshamsi, bagenze butereevu mu maka agalabirira abaana mu Kisenyi wansi wa Ekereziya eya missionaries of the poor ne bawaayo emmotoka y’emmere okubayambako.
Akulira ekitongole kya HaBa Na HaBa mu ggwanga, Jesca Bagenda, ategeezezza nti bakwataganye ne bannamikago abawerako okulaba nga badduukirira abantu abeetaavu era kino bakikola nga bayamba okuwa abanaku emmere basobole okweyagala.
Bagenda agamba nti emmere eno yeetaagibwa nnyo naddala mu kiseera kino ng’ekirwadde kya Ssennyiga Corona kitabangudde ebyenfuna ng’abantu abasinga tebakyasobola kufuna kyakulya. Ono annyonnyodde nti aba HaBa Na Haba kino bakikoledde emyaka mukaaga era nga buvunaanizibwa bwabwe okulaba ng’abanaku bafune ekyokulya mu kifo ky’emmere okubeera ng’esuulibwa.
Mu nteekateeka eno, aba Haba Na Haba batuukirira obutale obwenjawulo nga; Nakawa, Nakasero, Kaleerwe ne Nateete ne baweebwa emmere ku bwereere, olwo oluvannyuma lw’okugikung’aanya n’etwalibwa eri abantu abagyetaaga mu bifo ebyenjawulo.