Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Ndeeba – Kyaddondo
Enkya ya leero Oweek Choltilda Nakate Kikomeko yeegasse ku kaweefube w’okukunga abantu okwettanira okugemesa abaana mu nteekateeka ey’ekikungo Minisitule y’Ebyobulamu mu gavumenti ya wakati gye yatongoza nga 1 Mukulukusabitungotungo.

Abaana okuva ku myezi 9 okutuuka ku myaka 5, be basoosowaziddwa okugemebwa mu nteekateeka eno.Okugema kuno kukomekkerezebwa nga 5 omwezi guno ku St Joseph Nursery School- Ndeeba.
Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, wano w’asinzidde n’akubiriza abazadde, n’abo abalabirira abaana okubatwala bagemebwe obulwadde bwa mulangira ne Kikutiya olwo eggye lya Kabaka ery’e nkya libeere n’obulamu obweyagaza.

Okugema obulwadde bwa Mulangira (Measles) kubadde kukolebwa okuviira ddala mu myaka gy’ekinaana (80’s) era abakuze mu myaka baabuuzibwanga “6 killer diseases” – Akafuba (TB), Poliyo, Amamiro (Diptheria) Akalakiiro (Whooping Cough) ne Mulangira (Measles).
Kikutiya (Rubella oba German Measles) bulwadde bwefaanaanyiriza Mulangira era butambula n’okukwatira mu mpewo nga Mulangira.

Omwana alwadde obulwadde buno olususu lufuukuuka n’afaanana nga ekutiya zino ezaffe omuterekebwa emmwanyi ez’obugogwa, eno y’ensonga lwaki obulwadde bwagandawazibwa nebuyitibwa KIKUTUYA.









