Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Umukuuka wa Bagisu, eyafa ku ntandikwa y’omwezi guno (Decemba) oluvannyuma lw’okulumbibwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/01/jumu.png)
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti kimanyiddwa Uganda ekolebwa obuwangwa n’amawanga ag’enjawulo, era ng’abakulembeze ng’ono ke kabonero k’enjawulo eziri mu bantu be bakulembera.
Bino Owek. Mayiga abitadde mu bubaka bw’atisse Owek. Rashid Nsubuga, akiikirira abantu ba Buganda mu kitundu kino mu lukiiko lwa Buganda, n’alaga nti ekifaananyi ky’Abagisu kibadde kyeyolekera nnyo mu Umukuuka Mushikori, kati omugenzi.
“Nzijukira bulungi bwe twayanirizibwa mu kitiibwa nga tukyalidde ‘Inzu ya Masaaba’ nga 9 August, 2014 bwe twali mu kunoonya Ettooffaali mu bintu by’obuvanjuba.” Obubaka bwa Katikkiro bwe busomye.
Katikkiro yannyonnyodde nti enkolagana wakati wa Buganda ne Bugisu eviira ddala ku Ssekabaka Kintu.
Owek. Mayiga agambye nti eggwanga lyonna lifiiriddwa nnyo kuba ono abadde mpagi luwaga mu kukulembera Abagisu wamu n’okubasigamu obumu.
Umukuuka aziikiddwa ku biggya bya bajjaja be e Buduuda mu Bugisu, omukolo gwetabiddwako abakulembeze abenjawulo okuva mu Uganda ne Kenya era bano batendereza nnyo omugenzi olw’okugatta abantu be.