
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Obwakabaka bukungubagidde eyali minisita w’ebyemirimu n’enkulaakulana mu gavumenti ya Kabaka era omu ku batandisi ba leediyo ya CBS, Owek. Hubert Robert Kibuuka eyavudde mu bulamu bw’ensi ku ntandikwa ya wiiki eno.
Obwakabaka obubaka obukungubagira omugenzi bubuyisizza mu bigambo bya Katikkiro Charles Peter Mayiga byategeezezza abakungubazi abeetabye muk kitambiro ky’emmisa eky’okusabira omugenzi ku Christ the King mu Kampala ku Lwokuna.
Mu kwogera Katikkiro Mayiga ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde ayagala ennyo Kabaka we, ennono n’Ekika kye era bino byeyolekera mu mirimu gye egy’enjawulo.

Owek. Mayiga agambye nti mu kiseera nga Obwakabaka bwakaddizibwawo, Eng. Hubert Kibuuka yatetenkanya wamu ne banne abalala okulaba nga Obwakabaka bufuna eddoboozi ku mikutu gyamawulire abantu bamanye enteekateeka z’Obwakabaka wamu n’okuwulira obubaka bwa Kabaka bweyatuusanga ku bantube.
Ono era annyonnyodde ng’omugenzi bw’abadde omukozi, eyawooma omutwe mu kutandikawo ebitongole by’Obwakabaka ebyenjawulo, omuli, cbs fm, BUCADEF, n’ebirala.
Okusaba kuno kukulembeddwamu Vicar General w’essaza ekkulu erye Kampala Mrsg. Gerald Kalumba era naye atenderezza emirimu gy’omugenzi eri Ekeleziya era yomu kwabo abaawaayo ensimbi ezaazimba keleziya ya Yezu Kabaka kyokka atuuse kufa nga ekeleziya eno tagiyingiddeemu.

Mrsg Kalumba asabye abantu okukola ebyo ebibaweesa ekitiibwa nga bakyali balamu kibayambe okwogerwako obulungi nga bavudde mu bulamu bwensi.
Ab’ekika ky’ Endiga omugenzi Kibuuka mw’abadde asibuka nga bakulembeddwamu Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo bamwebazizza olwebyo byalese akoledde ekika kye.
Ekitambiro ky’ emmisa kino kyetabiddwamu ba Katikkiro abaawummula, ba minisita okuva mu bwakabaka ne gavumenti eyawakati, ababaka ba palamenti, aboluganda abako n’abemikwano n’abantu abalala bangi.
Kinajjukirwa nti basawo bategeezezza nti omugenzi Hubert Robert Kibuuka yafudde bulwadde bwa Kkookolo era afiiridde ku myaka 73.
Gutusinze nnyo ayi Beene









