Bya Stephen Kulubasi ne Ronald Mukasa
Kibuli – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde omukiise mu lukiiko lwa Buganda, Owek. Hajji Ibrahim Sseguya eyavudde mu bulamu bw’ensi era nebumutendereza olw’emirimu amatendo gyakoledde ensi ye.
Omugenzi ayogeddwako ng’abadde omuteesa omujjumbize, omuwulize ate asengeka obulungi ensonga.
Obubaka buno busomeddwa Katikkiro, Charles Peter Mayiga mu kusaalira omugenzi esswala ye esembayo ku muzikiti e Kibuli ku Mmande.

Bw’abadde ayogerako eri abakungubazi , Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga ategeezezza nti omugenzi abadde musomesa era omukulembeze alaga ekyokulabirako ekirungi.
Wano Kamalabyonna wasinzidde naasaba abavubuka okulabira ku bukulembeze omugenzi bwayolesezza, basobole okuyiga engeri obukulembeze gyebulina okukwatibwamu kwossa ennyingo z’obuntu bulamu.
Mu ngeri yeemu, Jjaja w’obusiraamu mu ggwanga, Omulangira Dr.Kassim Nakibinge Kakungulu Mbuga alaze okunyolwa olw’okufiirwa omuntu gwayogeddeko nga abadde ow’omugaso ennyo eri eggwanga. Mbuga ategeezezza nti Owek. Sseguya akulembeddemu enteekateeka nnyingi ezikulaakulanyizza Obusiraamu naddala mu nsonga z’ebyobulamu.

Ate Omumyuka wa Supreme Mufti , Sheikh Ibrahim Ntanda Muzzanganda yebazizza omugenzi olw’okubalungamyanga mu nzirukanya y’emirimu gy’obusiraamu nebasobola okuweereza obulungi abantu ba Allah.
Omukolo gw’okusaalira Owek. Hajji Ibrahim Sseguya gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo omuli Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo, Sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Omumyuka wa Sipiika Owek. Hajji Ahmed Lwasa, Omulangira Kalifaani Lukanga Kakungulu n’abakungubazi abalala bangi. Omugenzi yafiiridde mu ddwaliro e Kibuli oluvannyuma lw’okumala akabanga nga atawanyizibwa ekirwade kya kkookolo.
Ono aziikiddwa lunaku lwa leero ku biggya bya bajjajja be e Vumba mu Ssaza Bulemeezi.









