Bya Stephen Kulubasi
Lubaga
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde omusumba w’essaza lye Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa eyafudde ku lunaku Lwokusatu muddwaliro e Mulago.
Mu bubaka bwa Katikkiro obumusomeddwa omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita w’ebyensimbi mu Bwakabaka Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, mukitambiro kya mmisa mu lutikko e Lubaga, Obwakabaka busiimye omugenzi okumakuma abantu b’Omutanda mu ssaza lye Buddu.
Kamalabyonna Mayiga atendereza omugenzi olw’okwagala ennyo ekika kye eky’Embogo nga abadde yenyigira mu mirimu gyakyo okulaba nga kikulaakulana.
Obwakabaka busaasidde nnyo omukulu w’ekika Jjajja Kayiira olw’okuviibwako omuzzukulu ow’omugaso.
“Embeera z’omusumba John Baptist Kaggwa zisaana zibeere eky’okuyiga eri ffe abakulembeze” ekimu kukitundu ky’obubaka bwa katikkiro owek. Charles Peter Mayiga bwekisomye .
Ku lulwe, Owek. Nsibirwa ayogedde ku mugenzi nga omusajja omwetowaze era namwebaza olw’okuyamba ku kibiina kya Rotary bwebaali basonda ekizimbe omulina okujjanjabirwa abafunye obubenje muddwaliro e Nkozi era nga naye mukitibwa kye yeetaba mukwoza emmotoka basobole okuweza ssente.
Ate akuliddemu okusoma mmisa era Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, asinzidde wano nasaba abantu okukuuma emirembe era nasabira abakuuma ddembe bakole omulimu gwabwe mubutuufu.
Ssaabasumba Lwanga yenyamidde olwa bannabyabufuzi abamu abatandise okulumiriza abaganda nga bwebasosola mu mawanga olw’okulonda bannabwe nagamba nti akaseera katuuse eggwanga litambulire ku nkola ya Federo buli kitundu kikole ku byakyo.
Abantu ab’enjawulo bayogedde ku mugenzi nga muno mulimu bwanammukulu wa lutikko y’e Lubaga Archiles Mayanja amwogeddeko nga omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu.
Ye Cansala w’essaza lye Masaka, Rev. Edward Sekabanja era nga yakiikiridde n’omusumba Jjumba, ayogedde ku mugenzi nga abadde omuntu ate omuzadde omulungi.
Ku lwa gavumenti eyawakati Minisita John Chrysestom Muyingo nti obubaka bwa gavumenti bwakujja mukuziika naye atendereza omugenzi olw’empisa era ayagala ennyo abantu.
Bbo ab’enju y’omugenzi abakuliddwamu muganda we ategerekese nga Makumbi bamwogeddeko nga omuntu omumalirivu era asonyiwa akaseera konna.
Ekitambiro kya mmisa kino kyetabiddwako bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo, abakungu bagavumenti, abakungu ba Kabaka wamu ne bannabyabufuzi.
Emmisa eno ekoleddwa mungeri ya Sayansi Okusaba okutangira okusasaanya ekirwadde kya kovidi 19 wabula kino tekirobedde bantu kweyiwa wabweru wa kelezia okusobola okwetaba mu mmisa eno.
Omusumba Kaggwa ajjukirwa nnyo olw’okuvaayo nasonyiwa abakuumaddembe ababalumba ku kiggwa ky’embogo bwebali bakung’aanye okumanyagana naye nebakubwamu ttiyaggaasi olw’ebyali bigambibwa nti Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine yali wakwetabamu.