• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka bukungubagidde Omulangira Kaggwa Kimera

Gambuuze by Gambuuze
February 5, 2025
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka bukungubagidde Omulangira Kaggwa Kimera
0
SHARES
80
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mbuya – Kyaddondo

Obwakabaka bukubangidde Omulangira Kaggwa Kimera Kagwa  eyavudde mu  bulamu bw’ensi nebusaasira famire ye olw’eddibu lino.

Obubaka obusiima omugenzi Kamalabyonna Charles Peter Mayiga abutisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule nabusomera abakungubazi abakung’aanidde ku kkanisa ya St. Barnabas Church of Uganda Mbuya.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asasiidde nnyo famire y’omugenzi kati  ekulemberwa Maama Evelyn Kaggwa olw’okuvibwaako mutabani waabwe omukulu bwatyo.

Mukuumaddamula Mayiga yeebaziza nnyo Katonda olw’obulamu bwawadde Kimera awamu ne taata we Owek. Tony Kiyimba Kaggwa olw’obuweereza bwe eri Obwakabaka bwa Buganda nga bwavamu ebibala ebirungi ebirabwako.

Omulangira  Kaggwa Kimera Kaggwa abadde mutabani w’omugenzi w’eyaliko Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda Olukulu, Oweek. Tony Kiyimba Kaggwa, nga abadde awangalira mu ggwanga lya Australia gyamaze emyaka 30.

Omulabirizi we Kampala eyawumula Rt. Rev. Hannington Mutebi bw’abadde abuulira, asabye nnyina w’omugenzi, Evelyn Kaggwa obuteelalikirira olw’okufa kwa mutabani we kubanga ebyawandikibwa biraga nti omuntu alifa naddayo ewateeketeeke mu ggulu.

Okusaba kuno kwetabidwaamu Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, Nnaalinya Dorothy Nassolo, Nnaalinya Sarah Kagere, Katikkiro eyawummula Owek Mulwanyamuli Ssemwogerere, Hon. Maria Kiwanuka, Omulabirizi eyawumula Rt Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, Abambejja n’Abalangira ab’enjawulo, ab’oluganda n’abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist