Musasi waffe
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde nnyo Dr Simon Kagugube eyafudde ku lw’omukaaga wiiki ewedde.
Ng’ayogerako ari abakungubazi abakugaanidde mu ekelezia e Ntinda, omumyuka wa Katikkiro asooka era avunanyizibwa ku mirimu, Oweek. Pulofeesa Twaha Kigongo Kaawaase agambye nti Kagugube ajja kulwawo nnyo nga akyajjukirwa olw’okwagala kwabadenakwo eri ekikakye eky’e Ngabi wamu n’obwakabaka bwonna okutwalira awamu.
“Kitalo nnyo kitalo ddala olw’okuviibwako omuntu ow’omugaso ennyo, omwerufu atasangika. Amawulire g’okufa kwa Simon Kagugube gatukubye wala…Obulwadde bwa Simon nabuwulirako naye nali ndowooza afunyeemu obukosefu ng’omuntu yenna bwayinza okuba kubanga nali siwulirangako nti ali ku ndiri,” bwatyo Kaawaase bweyagambye ng’asoma obubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ataasobodde kubeerawo.
Obubaka bwayongeddeko nti Kagugube abadde omuntu w’abantu era omukulembeze w’eddala erya waggulu.
“Tulumiddwa nnyo naye ekikubagizo katukifune mwebyo Katonda bya musobozesezza okukola,” obubaka bwa Katikkiro bwebutegezezza.
Ekitambiro ky’emisa kino kyakulembeddwamu omusumba w’essaza lya Kasana-Luwero Paul Ssemogerere era nga kwetabiddwamu Oweek. Christopher Bwanika, ssaabawolereza w’Obwakabaka, Katikkiro eyawummula Joseph Mulwanya mmuli Ssemwogerere, Oweek. Apollo Makubya n’abalala bangi.
Kagugube yabadde ssentebe w’olukiiko oluddukanya ekitongole ekiwooza ky’emisolo URA, era abadde ssentebe w’olukiiko oluddukanya olupapula lw’amawulire olwa Daily Monitor.
Waakuziikwa leero e Mityana mu Ssingo.