Bya Betty Namawanda
Rakai- Kkooki
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Damalie Marion Nakisozi Lwanga omukama eyafiira mu America oluvannyuma lw’okulumbibwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Nakisozi Lwanga abadde omu ku bakiise ku lukiiko lw’essaza mu Atalanta Georgia ekya America era ng’abadde omu ku bakulembeze abakulembera ebibiina bya Baganda mu America omuli Buganda Bumu North American Convention ne Agali Awamu South East, USA era ng’abadde muwulize eri Nnamulondo.
Ono eyaziikiddwa olunaku lw’eggulo ku biggya bya bajjajja b’e Buyamba mu disitulikiti y’e Rakai mu Kkooki.
Mu bubaka bwe obwamusomeddwa Ppookino Jude Muleke, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasaasidde abafamire, Omwami David Lwanga ne Getrude Lwanga olw’okufiirwa muwala waabwe.
Owek. Mayiga ategeezezza nti omugenzi abadde muntu wa njawulo era abadde ajjumbira nnyo enteekateeka z’Obwakabaka.
Kamalabyonna era asiimye Omwami David Lwanga kitaawe w’omugenzi olw’obuweereza obulungi bwe yalaga mu kitongole kya Buganda Land Board.
Ku lulwe, Ppookino Jude Muleke asabye ab’enganda z’omugenzi obutaggwaamu ssuubi wabula bakole nnyo basobole okutwala mu maaso omumuli, Nakisozi gw’alese emabega.
Ate ye Omukwanaganya w’emirimu gya Ssaabasajja Kabaka e Kkooki, Owek. Getrude Ssebuggwawo yeebazizza abantu ba Kabaka mu America abakoze ekisoboka okuzza omugenzi ku butaka.
Asabye abantu ba Kabaka mu Kkooki okwewala ezifuuse ez’obulabe ennyo eri abantu mu kitundu kino omuli Mukenenya ne Hepatitis B era bagoberere ebiragiro bya basawo ku Ssennyiga Corona basobole okubeera abalamu.
Omubaka wa Kabaka mu ssaza lya South East mu America, Samuel Mwanje Kiggwe n’Omulangira Fred Kalema Musoke eyali omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu America ne Canada boogedde ku mugenzi Damalie Marion Nakisozi Lwanga ng’abadde muwagizi nnyo mu bibiina bya Baganda ebiri emitala w’amayanja era nga ayagala nnyo Obuganda.
Ate ye Ssaabadinkoni w’ekkanisa y’e Rakai, Kanoni Nkambo Mugerwa eyakulembeddemu okusabira omugenzi yaggumizza ab’enganda mu kiseera kino n’abasaba okwekwasa Katonda kubanga bo nga’Ekkanisa beenyumiriza mu famire eno.