• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obwakabaka bugguddewo ebyobulambuzi byabwo

Gambuuze by Gambuuze
September 28, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Obwakabaka bugguddewo ebyobulambuzi byabwo
0
SHARES
41
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Kampala

Obwakabaka bwa Buganda bugguddewo ebifo byabwo eby’obulambuzi eri bannayuganda wamu n’abalambuzi abava ebunaayira.

Minisita Kyewalabye Male

Kino kirangiriddwa Minisita w’ebyobulambuzi mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male, bw’abadde ayogerako eri bannamawulire Ku lunaku lwa Ssande ng’ensi yonna ejaguza olunaku lw’ebyobulambuzi wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Ebyobulambuzi n’enkulaakulana” olukuzibwa buli 27/09 olwa buli mwaka.

“Ntwala omukisa guno okutegeeza abantu ba Ssaabasajja Kabaka wano n’emitala w’amayanja ssaako n’abalambuzi abava mu nsi yonna nti, ebifo by’Obwakabaka eby’obulambuzi bigguddwawo mu butongole eri abalambuzi okusobola okubirambula nga tugoberera amateeka agaateekebwawo.” Kyewalabye bwe yalangiridde.

Kino kiddiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okutegeeza ng’ekisaawe ky’ennyonyi Entebbe bwe kyaguddwawo eri abalambuzi oluvannyuma lw’okumala emyezi egiwerako nga kiggaddwa olw’ekirwadde kya COVID-19.

Kyewalabye yategeezezza nti beetegese okutunda ebyobulambuzi nga bayitira ku mutimbagano, okulambuza abalambuzi nga bayitira ku mutimbagano(E-Tourism) wamu n’okukwata abalambuzi ku ntambi nga bawa emboozi ez’ebyafaayo ku byafaayo bya Buganda n’ebyobulambuzi ebibulimu.

Minisita Kyewalabye era yannyonnyodde nga bwe batandise ku nteekateeka y’okuddaabiriza ennyumba ya Kapere Lugard (Captain Lugard) esangibwa ku kasozi Kampala Mukadde era bongere ku bintu ebirimu n’ebitabo omuli ebyafaayo wamu n’okwongera ku ebyo ebiri mu Kaddiyizo lya Buganda.

Era n’agattako nti baakutongoza omutimbagano gw’ebyobulambuzi mu bbanga entono wamu n’okwongera okutumbula ebyobulambuzi ebiri mu Lubiri lw’e Mmengo ng’empuku Amin gye yabonyaabonyereza abantu, ekifo Ssekabaka Muteesa II we yabuukira okwetaasa ku kibambulira kya Milton Obote wamu n’ennono n’obulombolombo obusangibwa mu Lubiri luno.

Mu nteekateeka endala mulimu; emikululu wamu n’okulambula embuga z’ebika kiyambe abaganda okulambula wamu n’okwongera okumanya ku bika byabwe, omukululu gw’olugendo lw’Amatikkira era nga balina kaweefube w’okukwatagana ne kkampuni z’ennyonyi, wooteeri, KCCA ne Disitulikiti y’e Wakiso okwongera okutumbula ebyobulambuzi mu Buganda.

Male yategeezezza nti bakwataganye ne bannamikago n’ebitongole nga KCCA, Rotary Club y’e Lubaga awamu ne wooteeri nga Pope Paul okulaba ng’ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba eddaabirizibwa efuuke ekyobulambuzi eky’omuwendo era ng’eno mu bbanga ttono egenda kuggulwawo eri abalambuzi.
Mu nteekateeka endala gye baliko, Kyewalabye yagambye nti kuliko okuzimba amasiro g’e Kasubi n’okuteeka ebibumbe ku luguudo lwa Kabakanjagala.

Male yannyonnyodde obukulu bw’ebyobulambuzi mu Buganda ne Uganda era n’ategeeza nga Minisitule y’ebyobulambuzi bw’eteeseteese enkola empya (New Normal) okulaba nga bisobola okugenda mu maaso wakati mu kwekuuma ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Kyewalabye yalaze nga bw’atadde essira mu by’obulambuzi by’Obwakabaka ebisangibwa mu byalo, kiyambe abantu mu bitundu ebyo okuganyulwamu nga bafuna ensimbi mu kuguza abalambuzi ebintu byabwe era nga kino kituukana n’omulamwa gw’ensi yonna ogw’omwaka guno ogwa ‘Ebyobulambuzi n’enkulaakulana mu byalo (Tourism and Rural Development)’.

Ono yasabye abantu ba Kabaka okwettanira ebyobulambuzi ebiri mu Buganda bongere okumanya ennono, ebyobuwangwa wamu n’ebyafaayo.
Ebimu ku bino Buganda kwe yeesigamye mulimu; Oluguudo lwa Kabakanjagala, Bulange, Olubiri lw’e Mmengo, Ssezibwa, Katereke, Ejjinja Mawuuno, Naggalabi, Ennono, Wamala n’ebifo ebirala.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.