Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda bwongedde amaanyi mu kaweefube w’okutumbula ebyobulimi nga bugabira abalimi mu masaza ag’enjawulo ensigo ez’omutindo, basobole okwongera ku bungi bw’amakungula awamu n’amagoba ge bafuna.
Enteekateeka eno etandikidde mu masaza okuli Busujju ne Ssingo naye nga yaakubuna amasaza gonna.
Abalimi e Busujju n’e Ssingo baweereddwa ttani za kasooli eziwera 2 era nga zibaweereddwa Minisita omubeezi ow’empuliziganya ne tekinologiya, Owek. Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo.
Bw’abadde akwasa abaami ba b’amasaza ensigo zino okuzibunyisa mu bitundu ebyenjawulo, minisita w’ettaka, obulimi n’obwegassi, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja agambye nti kaweefube aliwo kwe kusobozesa abantu ba Beene okukola ennyo, bafune emmere emala awamu n’okwekulaakulanya.
Ate ye Owek .Hajji Hamis Kakomo asinzidde wano n’asaba abalimi okulabirira obulungi ensigo zino ekigendererwa kya Kabaka eky’okutumbula embeera zaabwe kisobole okutuukirira.
Ku lwa Abaami ba Kabaka abaweereddwa ensingo zino, Amyuka Kasujju, Christopher Nsimbe ategeezezza nti baakukola ekisoboka okulondoola ensigo zino gye banaaba bazigabye zisobole okuvaamu amakungula amalungi.