• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka budduukiridde ewangula owa NRM kitaawe n’agaana okumuweerera

Gambuuze by Gambuuze
April 13, 2021
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka  budduukiridde ewangula owa NRM kitaawe n’agaana okumuweerera
0
SHARES
54
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Jesse Lwanga
Kyaggwe

Obwakabaka bwa Buganda nga buyitira mu kitongole ky’ebyenjigiriza ekya Kabaka Education Fund awamu n’essaza ly’e Kyaggwe, badduukiridde omuyizi Amos Wambede ne bbasale enaamuyamba okumalako emisomo.

Kino kiddiridde taata wa Wambede era omuwagizi wa NRM okugaana okumuwerera ng’amulanga okuwangula munnakibiina kya NRM era ggwe yali anoonyeza akalulu mu kalulu akawedde.

Wano akulira ebyenjigiriza ku ssaza ly’e Kyaggwe, Steven Katabalwa w’asinzidde n’asaba abazadde okukomya eky’okukotoggera ebirooto by’abaana baabwe, wabula babayambeko okubitumbula basobole okubayamba mu bukadde bwabwe.

Katabalwa y’akwasizza Wambede ebbaluwa eno ku lw’ekitongole kya Kabaka Education Fund ku nsisinkano ebadde e Kyaggwe.
Wambede gye buvuddeko yavaayo n’alaajanira abazirakisa okumuyamba okumuzzaayo ku ssomero olwa kitaawe Moses Madanda eyagaanira ddala okuddamu okumuweerera olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

Ye Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly’e kyaggwe, Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembya, agamba nti oluvannyuma lw’okusisinkana n’okubaako by’ayogera ne Wambede, yalaba obwetaavu bwe yalina ne basalawo okumuweerera, n’amusuubiza n’okumwongerayo okutuuka ku yunivaasite singa anaaba asomye bulungi.

Wambede yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’obuyambi obwamuweereddwa era oluvannyuma ono akwasiddwa omukulu w’essomero lya Ntenjeru Parents gy’agenda okukakkalabiza emisomo gye.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist