Bya Ronald Mukasa
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asisinkanye Ssenkulu ku w’omukutu gw’ebyempuliziganya gu Uganda Broadcasting Corporation – UBC, Omuk. Watson Agaba okutema empenda ku ngeri omukutu guno gyeguyinza okukolagana n’Obwakabaka okutumbula omutindo gw’ebyembuliziganya eri abantu ba Kabaka
Ensisinkano eno ebaddemu okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okutumbula eby’empuliziganya mu Bwakabaka okutuusa obuweereza obw’omutindo ku bantu ba Beene era yetabiddwamu n’abamu ku bakulira ttivi y’Obwakabaka, BBS Terefayina.
Okusinziira ku Omuk. Watson Agaba baagala okunyweza enkolagana n’Obwakabaka kubanga emirimu gyebukola mu bantu babwo gigendereddwamu okutumbula embeera zabwe n’okubakulaakulanya era ono ategeezeza nti ne UBC eruubirira okulaba ng’eddoboozi ly’Obwakabaka lituusibwa ku bantu okwetoloola Uganda yonna kubanga nabo baagala okulaba nga bannayuganda bakulaakulana. Ono era atenderezza kaweefube wa Mmwanyi Terimba, n’enteekateeka y’Oluwalo by’agambye nti ebizimbe obukozi n’obumu mu bantu ba Nnyinimu.
Oweek. Nsibirwa ategeezeza nti wajja kubaayo ensisinkano endala oluvannyuma lwa ssabbiiti bbiri okwongera okuttaanya ebyogeddwako n’okunyweza omukago ogusuubirwa okuvaamu ebibala ebiwerera ddala.
Omuk. Watson awerekeddwako abakungu abalala okuva ku UBC era bawagidde emirimu gy’Obwakabaka n’akakadde k’ensimbi kamu nga bayita mu nkola ey’Oluwalo.