Bya Francis Ndugwa
Bulange Mmengo
Minisitule y’ebyobulamu mu Bwakabaka bwa Buganda wamu n’abasawo mu ssaza Kyaddondo, nga bali wamu n’ekibiina ekibudaabuda abalina akawuka ekya TASO, baategese omusomo okubangula abantu ku ngeri gye basobola okwekuuma wamu n’okwejjanjaba ekirwadde kino singa kibeera kibakutte.
Mu musomo guno ogwayindidde mu Bulange eggulo ku Lwokutaano, Minisita w’amawulire mu Bwakabaka Owek. Noah Kiyimba weyasinzidde nasaba abantu bonna ku mitendera egy’enjawulo okufaayo ku bulamu bwabwe era bajjumbire ekiragiro kya Ssaabasajja ku kwekuuma ekirwadde kya Mukenenya.
“Kikulu nnyo mwe abasomi okuddayo nemumulungula ebyo ebibasomeseddwa era nemubisomesa abalala, ye nsonga lwaki Ssaabasajja Kabaka bwavaayo ku nsonga y’okulwanyisa obulwadde buno obwa Mukenenya, ffenna fenna ku mitendera gyonna twegatta ku Ssaabasajja Kabaka,” Owek. Kiyimba bwe yagambye.
Minisita Kiyimba yannyonnyodde nti abantu basaanye okwekebera bamanye webayimiridde era baleme okweyinula kya ddagala liweweza ku Mukenenya naye bekuume era nasiima abasawo olw’okufaayo ennyo ku balwadde.
Omukugu okuva mu Minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti eyawakati, Dr. Phionah Kalinda ategeezezza abeetabye mu musomo nti ebikolwa by’okufumbiza abaana nga tebanetuuka kyekimu ku bintu ebisibye ekirwadde kino mu ggwanga era nga okunoonyereza kulaga nti ekirwadde kino kisinga mu bakyala n’abavubuka.
Omumyuka wa Kaggo, Ronald Bakulu Mpagi yenyamidde olwa ssente ezibaweebwa era nasaba ensonga yabwe etunulwemu.
Bino webigidde nga Omutanda yakamala okuddamu okulembera olutabaalo ku kirwadde kya Mukenenya era nga ku murundi guno abaami be bakulembedde olutalo basobole okutaasa abaana abawala. ne mumulungula ebyo ebibasomeseddwa era ne mubisomesa abalala, y’ensonga lwaki Ssaabasajja Kabaka bwavaayo ku nsonga y’okulwanyisa obulwadde buno obwa Mukenenya, ffenna ffenna ku mitendera gyonna twegatta ku Ssaabasajja Kabaka.” Owek. Kiyimba bwe yagambye.
Minisita Kiyimba yannyonnyodde nti abantu basaanye okwekebera bamanye we bayimiridde era baleme okweyinula okutuusa kya ddagala liweweza ku Mukenenya naye beekuume era n’asiima abasawo olw’okufaayo ennyo ku balwadde.
Omukugu okuva mu Minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti eyaawakati, Dr. Phionah Kalinda, yategeezezza abeetabye mu musomo nti ebikolwa by’okufumbiza abaana nga tebanneetuuka kye kimu ku bintu ebisibye ekirwadde kino mu ggwanga era ng’okunoonyereza kulaga nti ekirwadde kino kisinga mu bakyala n’abavubuka.
Omumyuka wa Kaggo, Ronald Bakulu Mpagi yennyamidde olwa ssente ezibaweebwa era n’asaba ensonga yabwe etunulwemu.
Bino we bijjidde ng’Omutanda yaakamala okuddamu okukulembera olutabaalo ku kirwadde kya Mukenenya era nga ku mulundi guno abaami be bakulembedde olutalo, basobole okutaasa abaana abawala.