Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Makerere – Kyaddondo
Minisita w’Amawulire okukunga era omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe kitooke yakiikiridde obwakabaka mu lukungaana luno olw’Abakulembeze bekkanisa ezenjawulo nebitongole bano nga bagendereddemu okubangulwa mu by’obukulembeze , ebyenfuna n’ebirala ebikwata ku bulamu bwabwe obwabulijjo.Olukungana luno luyindidde ku Grand Global Hotel e Makerere.

Minisita akubirizza abakulembeze bano okubeera abeerufu mu nkola yabwe eyemirimo kino kibayambe okufuna ekitiibwa nga vawereza Katonda wamu n’okubeera abembala mumaka gabwe.
Minista ayongedde nabasibirira entanda ey’okubeera abavumu beewale okubeera abatiitiizi nga baweereza katonda.

“Abakulembeze mufeeyo nnyo okubeera abavumu, ab’obuvunaanyizibwa era abatetenkanya, omukulembeze olina okubeera omumanyi osobole okuwa amawulire amatuufu, mufube nnyo okukola n’okwagala kubanga omulimu gw’okola nga oyagala tegukooya” Minisita Kazibwe.
Minisita yebazizza abantu bano olwokwagala mukama Katonda n’okumuwereza n’omutima gumu era nabasaba obutakoowa kwagala Katonda.

Apostle Mwebaza Margaret nga ye Ssentebe w’ekitongole ki “Kol Shalaisha Ministry” abateekateeka abakulembeze n’okubabangula mu by’ensimbi, eby’obulamu n’ebyomwoyo. Yebazizza obwakabaka bwa Buganda olw’okunnyikiza wamu n’okwagazisa abantu ennono n’obuwangwa bwabwe era n’asaba abalokole bonna obutasuula nnono zaabwe batambule nazo nga bwe batendereza omutonzi.










