Bya URN
Amaka gw’obwapulezidenti
geetaaga obuwumbi 61 okusobola okulayiza pulezidenti anawangula akalulu ka
b onna akanaabeerawo mu 2021. Ensimbi
zino era zigenda kuyambako mu nzirukanya y’emirimue gy’ababaka ba pulezidenti
mu disitulikiti. Ng’alabiseeko mu kakiiko akakola ku nsonga z’obwapulezidenti
minisita avunanyizibwa ku nsonga zino Esther Mbayo yagambye nti okulayiza
pulezidenti kugwa mu mbalirira y’omwka 2020/2021 kyokka nga essente zino
tezaateereddwa mu mbaliria eno.
Yayongeddeko nti woofiisi ye yabadde eweereddwa obuwumbi 7.7 zokka kwezo obuwumbi
11.2 ezeetaagibwa okuddukanya woofiisi z’aba RDC. Mbayo yagambye nti
newankubadde ng’omuwendo gwa zi disitulikiti gweyongedde, palamenti teyongezanga
sente zebawa. Mbayo era yasabye obuwumbi obulala 924 okusobola okugula emidaali
gavumenti gyewa abazira eb’enjawulo naddala egya bakulembeze b’amawanga
amalala. “Tetwagala kuswaza mukulembeze waggwanga nga talina mudaala gusaanidde
gwakuwa bakulembeze balala,”Mbayo bweyagambye.