Bya Musasi Waffe.
Ekiro ekikeesezza olwaleero, ebitongole by’ebyokwerinda bizinze ebisulo by’abayizi ku Ssetendekero wa Makerere nebimenya enzigi n’okukuba abayizi embooko ezitagambika.
Okusinziira ku omu ku bakulembeze b’ abayizi, Judith Nalukwago, ab’ebyokwerinda okubadde poliisi n’amaggye, tebalina ggwe batalizza mu bikwekweto bino. Ebisulo ebirumbiddwa kubaddeko eby’abawala, Mary Stewart ne Complex saako ekya Lumumba, Michel ne Nsibirwa nga bino bisulwamu balenzi. Ebikwekweto era bitwaliddemu n’ebisulo bya bayizi ebiriraanye Makerere. “Baalinze obudde bumale okuziba nga tewali kamera z’abamawulire nebalyoka batulumba. Bamenye buli lujji nebalyoka bakuba buli gwebasanzeemu awatali kutaliza oba mulema oba muwala,” bwatyo Nalukwago bweyagambye nga ayogerako ne laadiyo ya CBS. Anyonyodde nti tebagenda kulekayo kwekalakaasa okujjako nga abakulira Ssetendekero ono bejjuludde kukyebabadde basazeewo eky’okwongeza ebisale okutuuka ku bitundu 15 ku 100. Olwa leero, luyingidde olunaku olw’okuna nga abayizi beerya obuguju olw’enteekateeka eno. Ku lwokusatu n’olwokuna, abakulembeze b’abayizi abawera 30 omuli nabakulira, Julius Kateregga baakwatibwa nga nabuli kati byakyakuumirwa mubudduukulu bwa poliisi obwenjawulo.
Omwogezi wa Ssetendekero, Dr Muhammad Kiggundu yategeezeza omukutu guno kulukomo lw’essmu nti nga Ssetendekero, tebawagira kyakulumba bayizi mubisulo byabwe ekiro nebabakuba emiggo wabula tebalina kyakukikolera.
“Olaba ne palamenti baagirumba nebakuba ababaka embooko sipiika natabaako nakyakolawo. Ensonga bwezifuuka ez’ebyokwerinda ziba zivudde mumukono gyaffe,” Kiggundu bweyategeezeza. Yagaseeko nti baakugenda mumaaso nga bwogeraganya n’abayizi baabwe basobole okutegeera lwaki kyetaagisa okwongeza ebisale. “Balina kukitegeera nti ensonga eno yasalwawo dda wabula ebadde tenateekebwa buteekebwa munkola. Ekirala ate okwongeza ebisale tekugenda kukosa bbo wabula abo abagenda kuyingira omwaka ogujja,” Kiggundu bweyategeezeza. Okuva Barnabas Nawangwe bweyafuuka omumyuka wa Ssenkulu we Makerere, okwekalakaasa gwafuuka musango munene ddala era nga buli mulundi abayizi bwebageezaako okwekalakaasa amagye ne poliisi biyiibwa mu Ssetendekero ono mubungi ddala okugezaako okukulemesa.