
Bya Musasi Waffe
Kampala
Obululu bw’ekikopo ky’ omupiira gw’ebika bya Buganda bukwatiddwa era nga ttiimu ez’enjawulo zaawuddwamu ebibinja 8 era minisita w’ebyemizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu alaze obukulu bw’empaka zino.
“Ekisinga ddala obukulu kwekuba nti abantu ba Buganda bamanya era nebakkiriza nti olutabaalo lw’okuzza emipiira gy’Ebika luli ku ggwe, mu makaago, mu nnyumba mwova, mu lunyiriri lwo, mu mutuba gwo, okutuukira ddala mu kasolya ko,” Owek. Ssekabembe bw’agambye.
Ono asabye abantu ba Kabaka okukomya okubuuliza ewaka emipiira bwegiwedde naye bafeeyo okudda mu kisaawe okusobola okuzza ekitiibwa ky’empaka zino.
EKIBINJA A
- Mpindi
- Butiko
- Musu
- Kasimba
- Kiwere
- Lukato
EKIBINJA B
- Nkima
- Balangira
- Ntalaganya
- Kakoboza
- Kinyomo
- Nvuma
EKIBINJA Ç
- Ffumbe
- Nkerebwe
- Musagi
- Nkula
- Ndiisa
- Ndiga
EKIBINJA D
- Nsenene
- Gabunga
- Ngonge
- Nsambya
- Kisasi
- Kasanke
EKIBINJA E
- Mbogo
- Njovu
- Njobe
- Nvubu
- Nkejje
- Nyunga
EKIBINJA F
- Nakinsige
- Mpeewo
- Lugave
- Ngali
- Kibe
- Muyanja
EKIBINJA G
- Nte
- Nkusu
- Njaza
- Nsuma
- Mbwa
- Nyange
EKIBINJA H
- Kkobe
- Ngo
- Ngeye
- Namungona
- Mpologoma
- Kayozi









