Bya Najib Nsubuga
Mawokota


Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo, akubirizza abakulembeze b’abavubuka mu Buganda, okufubanga ennyo okussa essira ku buweereza n’okukola emirimu egibagasa ne be bakulembera. Minisita era akkaatirizza nti obukulembeze tekiba kitiibwa kyokka ebyo omukulembeze by’akola bye bimuweesa ekitiibwa.
Minisita okwogera bino abadde ku mukolo gw’okulayiza abakulembeze b’abavubuka mu Ssaza Mawokota, ogubadde ku mbuga ya Kayima e Butoolo mu Ggombolola ya Mumyuka Kammengo. Abakulembeze abalayidde Minisita abakuutidde okuwa bakama baabwe ekitiibwa, basobole okufuna okutendekebwa okulungi n’okugaziya emikisa gyabwe okulinnya amadaala mu buweereza.

“Buli lw’olwanyisa mukama wo, naawe oba weerwanyisa kubanga buli mukama wo lw’anafuwa naawe amuli wansi oba onafuwa era toba na mukisa gweyongerayo waggulu” Oweek. Serwanga.
Omuky. Nalwanga Maria Gorretti alayiziddwa nga Ssentebe w’Abavubuka e Mawokota era nga ye mukyala asookedde ddala okuba Ssentebe w’Abavubuka mu Ssaza lino. Amyukibwa Omw. Buyondo Abbas ate nga Omw. Kiggundu Hassan Battira ye Mukubiriza w’Olukiiko lw’Abavubuka wamu n’abakulembeze abalala mu magombolola agakola Mawokota. Ku lw’abakulembeze banne n’abavubuka bonna, Ssentebe Nalwanga aweze okuweereza Nnamulondo mu bwesimbu n’okuweereza Essaza awatali kwesaasira.
Omwami wa Kabaka atwala Essaza Mawokota, Kayima, Sarah Nannono Kaweesi, akubirizza abakulembeze b’abavubuka okuba ekyokulabirako mu magombolola gye baweereza olw’okunyweza ekitiibwa ky’obuweereza bwa Ssaabasajja Kabaka. Abasabye okuba abakozi ennyo lwe banaasobola okubaako ettoffaali lye bassa ku kuzza Buganda ku ntikko.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo, ajjukizza abavubuka ebigambo bya Maasomoogi bwe yasiima obuweereza bw’abavubuka mu kulwanirira ekitiibwa kya Nnamulondo ne Obwakabaka okutwalira awamu. Asabye abakulembeze abali ku mutendera gw’essaza n’amagombolola okukola ennyo bateeke mu nkola enteekateeka Obwakabaka ze buteekateeka. Abasabye okuba ab’empisa ennungi mu bantu gye bawangaalira kubanga be bakiise n’obukulembeze obwa Obwakabaka mu bitundu byabwe.

Nga tannaba kulayiza bakulembeze, Oweek. Serwanga yasoose kulambula bavubuka abakola emirimu egy’enjawulo mu Ggombolola okuli Muduuma, Mutuba I Mpigi, ne Mumyuka Kammengo.
Enteekateeka eno yeetabiddwako Omubaka wa Mpigi Omukyala Hon. Teddy Nambooze, Ssentebe wa Mpigi Omw. Ssejjemba Martin, Abaami ba Ssaabasajja Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Omumyuka wa Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omw. Kavuma Derrick, Omuwanika Omuky. Nambogga Evelyne, Omuwandiisi Omw. Kijjambu William ne Kalaani Omw. Kiberu Frank n’abakulembeze abalala.