Bya Musasi waffe
Obukadde 94 bwasondeddwa okuddabiriza ennyumba ya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mweyasulanga nga akyali muyizi mussetendekero e Makerere. Ensimbi zino zaasondeddwa kukijjulo ekyategekeddwa mu Butikkiro, amaka amatongole ag’obwa Katikkiro e Mmengo. Ekijjulo kyetabiddwako abantu ab’enjawulo abakutte mu nsawo nebawaayo bulyomu kyalina. Mu kwogerako gyebali, Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye nti omuntu ayagala okuzaaya eggwanga, yerabira ebyafaayo. Nabwekityo, natendereza nnyo omumyuka wa Ssenkulu wa ssenttendekero we Makerere Prof. Barnabas Nawangwe olw’okuvaayo n’ekirowoozo eky’okuzzaawo ennyumba eno okusobola okukuuma ebyafaayo bya Uganda. Mayiga era yeebazizza nnyo aba Buganda Twezimbe, olw’okusitukiramu nebakwasizaako Ssaabasajja Kabaka mu mirimu gy’okuzza Buganda ku ntikko.
Katikkiro era yatongozza ekitabo ekiraga abawagidde omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba eno, ekigenda okukuumirwa mu tterekero ly’ebitabo ku Bulange.